Judith Babirye azadde, kitaawe ne yeewaana

By Kizito Musoke

TAATA w’omuyimbi Judith Ba­birye akakasizza nga muwala we bwe yamutumidde okumutegeeza amawulire ag’essanyu nga (Ba­birye bwe yazadde)

Babirye1 350x210

Bya EMMANUEL BALUKUSA ne KIZITO MUSOKE

TAATA w’omuyimbi Judith Ba­birye akakasizza nga muwala we bwe yamutumidde okumutegeeza amawulire ag’essanyu nga (Ba­birye bwe yazadde)

Henry Mukooza Isabirye 75, yategeezezza Bukedde nti, Ba­birye yazadde omwana mulenzi.

Kyokka yagambye nti tamanyi bisingawo okuggyako ky’amanyi nti omwana ne muwalawe bali bulungi.

Bukedde tannasobola kwogera na Babirye wadde abamujjanjaba mu Amerika gy’ali.

Amawulire agaasasaanye ku mi­kutu gya yintaneeti gaategeezezza nti, Babirye yazaalidde Boston mu ssaza ly’e Massachusetts.

 abirye Babirye

 

Kyokka Bukedde bwe yasindika omusasi waayo mu Amerika okulaba Babirye mu September, twazuula nga e Boston yatuukirayo n’ajjanjabwa mu ddwaaliro lya Mass Gneral Hospi­tal wabula n’avaayo n’agenda mu kifo ekirala Babirye kye yatusaba okukuuma nga kya kyama.

E Boston yali afuniddeyo obuzibu bwa Bannayuganda naddala abawagira People Power abaali tebaagala ajjanjabirweyo olwa kye baayita okwonoona ensimbi z’omusolo.

Bukedde era yakaka­sizza nga Babirye tali Boston.

Wadde kitaawe yat­egee­zezza Bukedde eggulo nti Babirye n’omwana bali bulungi, wabula Bukedde bwe yasisinkana Babirye, abasawo baali batgegeezezza ng’embeera ye nzibu.

Ekyo kiri bwe kityo olw’ebigambibwa nti baamusanga­mu obutwa obw’omutawaana era abasawo baali basazeewo okug­gyamu olubuto bataase obulamu bwa Babirye kyokka ye n’agaana.

Era mu nteekateeka z’okuzaala kwa Babirye zaali ziraga okumug­gyamu omwana mu makkati ga November nga mu kiseera ekyo abasawo baabalirira ng’omwana aliba atuuse okuzaala oba okumu­muggyamu bamubikke.

 maka ga abirye ne sebulime we baabeeranga e yaliwajjala ku ukadde Amaka ga Babirye ne Ssebulime we baabeeranga e Kyaliwajjala ku Lukadde.

 

TAATA AKUKKULUMIDDE MUKODDOMI WE

Ye taata wa Babirye yakuk­kulumidde mukoddomi we Paul Musoke Ssebulime nti bukya Babirye agenda bweru tafangayo kumuwa mawu­lire gonna gakwata ku mukazi we.

N’agamba nti afubye enfunda eziwera okunoonya Sebu­lime babeeko bye boogera kyokka Sebulime n’atamuwa kadde.

N’agamba nti kyamwewuu­nyisa mu August 2019, bwe yee­kanga ebifaananyi bya Sebulime ng’azzeeyo ewa mukazi we eyasoo­ka Nnaalongo Lukiya ne bakyala ne mu bazadde ba Lukiya.

“Sebulime ne Babirye baakola omukolo ogw’amaanyi omwaka oguwedde ogwaliko n’omumyuka wa pulezidenti n’ebikonge ebirala. Kyewuunyisa okuba nga Sebulime yeefuulidde Babirye mu bbanga ettono lye baakamala”, bwe yat­egeezezza ng’ali mu maka ge e Ka­baale mu divizoni y’e Nyenga mu munisipali y’e Njeru mu Buikwe.

N’agamba nti yakoma okulaba Sebulime ku mukolo gwa kwanjula ne mbaga ne yeebuuza nti “Sebu­lime musajja wa ngeri ki ayinza okulwaza mukazi we n’atabaako ky’ayogera na baffamire ya Ba­birye wadde okubawa amawulire agakwata ku mukazi we?

Yagambye nti asuubira nga palamenti evunaanyizibwa ku bujjanjabi n’ensimbi endala ezeetaagisa okukuumira Babirye ebweru kyokka bwe bataazimuwe ajja kukuhhaanya abaffamire ye bazisonde ne bwe kinaaba kyetaa­gisa kutunda ku ttaka lye eriweza yiika 85 agenda kukikola.

 saalongo enry ukooza sabirye taata wa abirye Ssaalongo Henry Mukooza Isabirye taata wa Babirye.

 

Bibirye yagenda mu Amerika mu June 2019 okujjanjabwa olw’ebigambibwa nti yalya obutwa. Okugenda kwe kwaddirira Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga okumuwa olukusa okugenda bamujjanjabe nga January 19, 2019.

Era Sipiika bwe yagenda mu Amerika mu August 2019 mu lukiiko lwa Bannayuganda aba­beera mu Amerika olwa Uganda North America Association (UNAA) yayitirako Babirye gy’ali okumulabako.

Ate Babirye bwe yali e Boston, omuyimbi Pasita Wilson Bugembe yagendayo okumulabako.

Hellen Kaweesa, omwogezi wa Palamenti bwe yatuukiriddwa yagambye nti Babirye (omubaka omukazi owa Buikwe) yasaba Sipiika n’amukkiriza okugenda ebweru w’eggwanga okujjan­jabwa.

Mu kiseera kino wadde tannaba kukomawo, kyokka awuliziganya ne Sipiika era bamanyi buli ekifa ku bulamu bwe n’obujjanjabi bw’afuna. Kyokka amateeka tegabakkiriza kwogera ku muntu okuggyako ng’asoose kubawa lukusa.

Yagumizza abantu nti Babirye ajja kukomawo ng’ateredde ad­demu okuweereza abantu b’e Buikwe n’eggwanga.

 mukazi sebulime gwe yaddira Nalongo, Omukazi Ssebulime gwe yaddira

 

ABABAKA BOOGEDDE

Wabula ababaka ab’enjawulo Bukedde be yayogedde nabo baagambye bwe baabadde teban­namanya bya Babirye kuzaala.

Johnson Muyanja Senyonga, Ssentebe w’ababaka abava mu Buganda yagambye nti ensonga ezo talina ky’azimanyiiko naye alinze kuwulira kiva wa Sipiika kuba yabategeeza nti awuliziganya naye era nga yamulambulako mu ddwaaliro gy’ali.

Paul Musoke Sebulime (Buikwe North) bba wa Babirye yagaanyi okwogera n’aggyako essimu bwe twamuzuubuzizza ku mbeera ya Babirye.

Kyokka waliwo omubaka mukwano gwa Babirye eyategee­zezza nti waliwo ali ku lusegere ne Babirye gy’ajjanjabirwa eyamuwa amawulire g’okuzaala.

N’agamba nti Babirye asu­ubirwa kudda ku ntandikwa y’omwaka ogujja.