Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basisinkanye

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

 abamu ku balina emigabo mu Vision Group nga batuuka

Olunaku lwa leero abalina emigabo mu kkampuni ya New Vision Printing & Publishing Company Limited betabye mu lukung'aana lwabwe olutuula buli mwaka (Annual General Meeting).

Ssentebe w'olukiiko olufuzi, Monica Chibita asomedde bamembe alipoota y'emirimu bwe gitambudde mu mwaka 2018-2019 n'okukuba ttooki wa kkampuni gy'egenda.