Afaanana Kusasira ayagala kumusisinkana

By Josephat Sseguya

Ono bamuyita Nansubuga Kusasira agamba nti okuva Pulezidenti Museveni lwe yawa Catherine Kusasira ssente n’emmotoka kyamusukkako abantu bwe bamulaba nga bamusaba ssente olw’okuba afaanana Kusasira nga n’abamu balowooleza ddala nti ye Kusasira omuyimbi.

Kusasiraduplicate4 350x210

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

Ono bamuyita Nansubuga Kusasira agamba nti okuva Pulezidenti Museveni lwe yawa Catherine Kusasira ssente n’emmotoka kyamusukkako abantu bwe bamulaba nga bamusaba ssente olw’okuba afaanana Kusasira nga n’abamu balowooleza ddala nti ye Kusasira omuyimbi.

Ekisooka, Nansubuga agamba nti yava dda ng’afaanana Kusasira ate nga ne gye yakulira e Makindye era baamukazaako lya Kusasira

N’e Mityana gye yazaalibwa era baamuwa lya Kusasira wabula ye Kusasira omuyimbi talina ky’amumanyiko.



iga ya usasiraFiga ya Kusasira.



Nga kimususseeko na ddala abantu abamuseera mu maduuka nga balowooza nti baseera Kusasira omuyimbi alina ne ku ssente, yasazeewo anoonye Kusasira amubuulire oba baaluganda.

Agamba nti Kusasira obuzibu bw’amuleetedde bungi kubanga olumu yatambulirako ku boda boda eyali agivuga yasooka kumubuuza mmotoka Pulezidenti Museveni gye yamuwa gye yagitadde.

 iga ya ansubugaFiga ya Nansubuga.
 


Ayagala kumanya oba Kusasira mugandawe. 

Nti bazaddebe be yandibuuzizza teyabalabako yakula baafa ate nga baamutuuma Kusasira

Abamu baalowoozezza nti ayagala Kusasira amutwale ewa Pulezidenti naye yefunire ku ssente oba Kusasira omuyimbi amuwe ku ze yafunayo.

 ansubuga ku ofiisi za ukeddeNansubuga ku ofiisi za Bukedde.

 

Ebirala ku Kusasira

Ebya Ebya Kusasira n’aba NRM bituuse mu Kabineeti

Ebya Ebya Kusasira n’aba NRM bituuse mu Kabineeti

 

Sserugga agobezza Kusaasira emmotoka y'omusiguze n'afuna ekyuma ekirala
Aba NRM temunnwanyisa - Kusasira

Aba NRM temunnwanyisa - Kusasira

Ebya Mayinja ne Kusasira byongedde okulanda: 'Nkyali munyivu'