Eyaakayimbulwa ente emukwasizza

By Moses Lemisa

OMUVUBUKA eyaakayimbulwa mu kkomera e Buwambo bamukutte ku bigambibwa yabbye ente bwe baamusanze ng’agitwala mu lufula y’oku Kaleerwe.

Bba1 350x210

Brian Ssekimpi 28, eyagambye nti abeera ku Avis e Kawempe yakwatiddwa baabyakwerinda ku Kaleerwe zooni mu kiro ekyakeesezezza Ssande ng’alina ente egambibwa okuba enzibe.

Bwe yasabiddwa empapula kwe yagigulidde, yayagadde okudduka kyokka n’akwatibwa n’atwalibwa ku poliisi y’oku Kaleerwe n’aggulwako omusango ku fayiro SD:04/24/11/2019.

Ssekimpi yategeezezza abaserikale nti talina mulimu wadde nga waliwo abaamuwaddeko obujulizi nti mukinjaagi mu lufula y’oku Kaleerwe.

Yennyonnyoddeko nti ente eno eyabaddemu omuguwa yabadde agigoba bugobi okuva mu luguudo ereme kuleeta kabenje.

Yagasseeko n’asaba abaserikale obutamusiba kuba abadde yaakayimbulwa ennaku bbiri okuva mu kkomera e Buwambo ku misango egitali gimu.

Ronald Ssekamatte, omu ku balunzi yategeezezza nti waliwo ekibinja ky’ababbi abava mu lufula z’omu Kampala ne bayimbula ebisolo by’abantu.

Yagasseeko nti Ssekimpi alina ekibinja ky’abavubuka bakolagana nabo ng’abamu bakolera mu lufula nga kuliko n’ayitibwa Alafa ow’omu Kibe zooni ng’ono bwe yategedde nti ente gye baabadde babbye baabadde babaguddemu, yakubidde Ssekimpi essimu ente agireke adduke. Ebyembi yagenze okumulabula nga bamutaayizza.