Ekikwekweto kya poliisi kiyodde abeekweka mu mwala

By Eria Luyimbazi

Yagambye nti ababba abantu beefuula abatundira ku mabbali g’oluguudo nga bwe balabiriza be babeera baagala okunyaga.

Kukwata4web 350x210

POLIISI ekoze ekikwekweto mu Kampala n’ekwata abavubuka 13 abagambibwa nti be bamu ku babadde bateega abantu ne bababba n’oluvannyuma ne badduukira mu mwala gw’e Nakivubo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti ekikwekweto kino kyakoleddwa abaserikale okuva ku poliisi y’oku mwala nga baakulembeddwa ASP Consulata Kasule.

Yagambye nti ababba abantu beefuula abatundira ku mabbali g’oluguudo nga bwe balabiriza be babeera baagala okunyaga.

Yategeezezza nti ebikwekweto eby’okugogola Kampala byatandise mu nkola gye baatuumye ‘ TOKOLA’. Abamu ku baakwatiddwa ye; Kizito Ssejuko, Brian Arinanitwe, Samuel  Muwanguzi, Ojede Sam, Moses Okati,  Nichalas Nbutera ne David Osede.