Abatulugunyizibwa mulondole emisango gyamwe ku poliisi - Ochom

By Eria Luyimbazi

Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera poliisi Edward Ochom ye yasabye abantu ku mukolo gw’okutongoza ennaku16 ezikwata ku kulwanyisa ebikolobero ebituusibwa ku bakazi n’abaana abawala.

Kutambula2web 350x210

POLIISI esabye abantu ababa batuusiddwako ebikolobero ng’okutulugunyizibwa balondoole emisango gyabwe.
 
 Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera poliisi Edward Ochom ye yasabye abantu ku mukolo gw’okutongoza ennaku16 ezikwata ku kulwanyisa ebikolobero ebituusibwa ku bakazi n’abaana abawala.
 
Yagambye nti ekisinze okulemesa emisango egyekuusa ku kutulugunya n’okulinnyirira  eddembe ly’abakazi okugenda mu maaso be babeera batuusiddwaako ebikolobero bino okulemererwa okugirondoola ne bazuula okunoonyereza we kutuuse.
 
Yagambye nti wadde poliisi erina okusoomoozebwa yasobola okutwala emisango 1,396 mu kkooti abaagyenyigiramu ne bavunaanibwa.