Katikkiro aggumizza nti wakusigala ng'asaka ensimbi mu Gavumenti ya wakati

By Dickson Kulumba

Katikkiro aggumizza nti wakusigala ng'asaka ensimbi mu Gavumenti ya wakati

Sab1 350x210

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti wakusigala nga aggya ssente mu gavumenti eyawakati okukola emirimu Kabaka gye yamukwasa.

Abadde ayanukula abasinziira ku yintaneti ne batandika okumuvuma olw'okukwata ssente Pulezidenti Museveni zeyawaayo ku mulimu gw'amasiro e Kasubi.

 Mayiga era asinzidde mu lukiiko lwa Buganda omulayiziddwa abaami b'amasaza okufuuka abakiise b'olukiiko abajjuvu n'awa abavubuka amagezi okukozesa obulungi social media nga bawanyisiganyizaako ebirowoozo ebizimba so ssi kuyombesa n'okuvuma buli muntu bwe batakwatagana Ndowooza.