Liigi ya Uganda eya Rugby etandise nabbugumu

By Silvano Kibuuka

Liigi ya Uganda eya Rugby etandise nabbugumu

Rug1 350x210

Bya SILVANO KIBUUKA

Liigi ya Super eya Rugby Etandise:

Hima Heathens 06-00 Betway Kobs

FT Buffaloes 12 – 22 Mongers

Pirates 12 - 00 Rhinos

Impis 10 - 17 Warriors

Ekibinja kya wansi:

Sailors 22 - 00 Kifaru

Hippos 10 - 06 Rams

Pacers 33 - 06 Rams 2

Stallions 8 - 03 Boks.

Liigi ya Rugby aba Hima Heathens bagitandise na buwanguzi bwe bameze Betway Kobs ku bugoba 06-00 mu luzannya olwagguddewo sizoni ku kisaawe kya Kyadondo.

Kobs eyawangula Uganda Cup yalemeddwa okuzannya omupiira gw’ekiro ku bitaala mu kisaawe ekibadde kijjudde ebitoomi olw’enkuba etonnya obutasalako sizoni eno.

Guno gwe mupiira ogusoose mu liigi eyakyusizza erinnya okuva ku Nile Special Rugby League okudda ku Nile Special Stout kapiteeni wa Heathens Michael Wokorach n’agumya abawagizi nti beetegese okweddiza ekikopo.

Mu mirala egyazannyiddwa Toyota Buffaloes baatyoboddwa Plascon Mongers okuva e Ntebe eyabakubye ku bugoba 22-12.