Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

By Musasi wa Bukedde

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

6 350x210

BYA PROSSY NABABINGE

Enkoko kye kimu ku binyonyi kyenkana buli muntu kyawomerwa era nga mwattu osobolera ddala okugifumba mu ngeri ezenjawulo n’ogiwomerwa.

Omufumbi Micheal Mutale, kafulu mu kufumba akulaze bw'osobola okuteekateeka mu enkoko kawoomerwa n’oteegomba kugigula mu mawooteri nga weeyambisa  ebintu ebyangu.

 Ebyetaagisa; Enkoko y'ennyama, omunnyo, enniimu, aromat, chicken masala

EBYETAAGISA.

Enkoko, Ennimu, Chicken Masala, Aromat, Omunyo ne butto .

ENFUMBA.

Tematema enkoko ebifi by’oyagala mu sayizieyo gyosiimye, kwata ennimu ogisale era okamule amazzi g’ennimu nga gayiika bulungi.

 Kkamula enniimu wabula weewale okuteekamu obusigo

Kino oyinza okukikolera mu ngalo zo ng’oziyonjeza bulungi oba ku kasengejja era mu kukola kino, wewale okugattamu busigo.

Gitabule bulungi okulaba ng’omubisi guno guyingira bulungi mu nkoko eno era omamirireko omunyo.

 nkoko gisiike okutuusa ngemmyuuse Enkoko gisiike okutuusa ng'emmyuuse.

Mamirirako ekirungo kya “chicken masala” era okakase nga buli wamu omamirirawo kigisobozese okumyuka. Oluvanyuma giteeka mu butto ayidde wabula nga tannaba kuvaamu mukka.

Enkoko eno ogisiika okumala eddakika munana era nga mu bbanga lino egyakubeera nga eyidde ate nga ngonvu. Kyogigabulirako kiri eri gwe era nga ffe tusazeewo gigabulirako saladisi za nnyanya.

 nkoko eyidde erinze kuliibwa Enkoko eyidde erinze kuliibwa