Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

By Musasi wa Bukedde

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Tap11 350x210

ABANTU abamu olw’okuba n’obulemu ku mibiri gyabwe beesaasira ne balowooza nti, olw’ekikula kyabwe balina kukolerwa bantu balala okusobola okwebeezaawo. Kino si bwe kiri ku Seeka Isa Kintu 65, abangi gwe baakazaako erya Seeka Muzibe.

Yagaana okwekubagiza wadde okwesaasira ng’amanyi alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’omusajja obw’okulabirira amakaage n’okwebeezaawo. Seeka Muzibe musajja mufumbo, musuubuzi mu katale ka Nabuti mu kikko, Imaam ku muzikiti ogwa Masjid Noor e Ttakajjunge, musomesa wa ddiini, alina abaana mukaaga era mutuuze e Ttakajjunge mu Ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Bw’otuuka mu katale kano, n’otuuka ku mudaala gwe oyinza okulowooza akwematiriddeko kyokka nga talaba ddala naye ng’atunda ebintu bye ate aweereza bulungi. Seeka Muzibe mutabani w’abagenzi Kalifan Bikula eyali ow’e Kimenyedde ne Aisa Nabirye. Anyumya bw’asobola okutambuza obulamu omuli n’okulabirira abaana abatali babe: “Twazaalibwa abaana mukaaga nga ffenna twali balamu bulungi.

Wabula ku myaka 15 bwe nali mu S.1 e Nakaziba mu Bugerere amaaso gange gaatandiikiriza na mutwe okunnuma. Omutwe gwannuma okumala ekiseera kya myezi mukaaga era ne ntwalibwako e Mulago okulongoosebwa. Oluvannyuma lw’okugalongoosa, geeyongera kwonooneka ne nfuukira ddala muzibe.

Kino tekyannemesa kwekolerera era ebintu bye ntunda mu katale mbikoledde emyaka 10. Mu Mukono Town Council mmazeemu kati emyaka 30 era abasinga bammanyi olw’ekikula kyange ng’erinnya lya Kintu abasinga tebalimanyNKIMA AMAZZI Nasooka kukima mazzi omulimu gwe nakolera emyaka etaano nga nnina wooteeri gye nagasomberanga nga buli kidomola nkitunda 200/-.

 intu ne muwala we akyejwe asoma obusomesa Kintu ne muwala we Nakyejwe asoma obusomesa.

NTANDIKA OKUSUUBULA

Omuntu omu yankwatirwa ekisa n’aηηamba nti, emmotoka zaali zisobola okunkoona nga nsaza amazzi era kwe kusalawo n’ampa 8,000/- n’anfunira n’omudaala kwe nkolera kati. Ebiseera ebyo endebe ya mukene yali egula 4,000/- era nagula endebe bbiri ne ηηenda nga ngaziya mpola ne ntandika okwongerezaako ebintu ebirala.

Nnina bannange be ntuma ne bansuubulira bye ntunda okuli ebbumba ne mukene era oluusi bantundirako nga siriiwo. Bannange bannyamba ne ku ssenteez’empapula ssaako okuddiza bakasitoma naye ez’ebinusu tezintawaanya. Sirina lunaku lwe mpummula wabula buli lunaku nkeera ku ssaawa 12:30 ez’oku makya ne nzija mu katale okutuusa ku ssaawa mukaaga ez’emisana olwo ne nzirayo okusaaza abantu ku muzikiti e Ttakajjunge, olwo ne nzira enkeera.

Ekirungi nnina owa booda anvugako okundeeta buli ku makya era mmusasula mwezi 50,000/- ate okuddayo nfuna ku bavuzi b’omu katale. Okusalawo okukola omulimu guno sikisanzeemu buzibu kubanga kinyanguyira okusinga bwe nagenda ew’omuntu nga ndiko obuyambi bwe nfuna mu ngeri ey’okumusabiriza.

Okwekolera kisingako okusabiriza kubanga olunaku bwe lugenda obulungi nsobola okufunamu 10,000/- n’okusingawo. Okusoomoozebwa kwe nsanga kwa bakasitoma abatamanyi nga ndi muzibe abajja ne byimirira nga tebamanyi nti sibalaba era abamu balowooza sibafuddeeko.

Okukaluubirirwa okutuusibwako ebintu bye mbeera njagala. Ebyange biyinza okuggwaawo nga njagala kuleeta birala naye olw’okuba bannange babeera tabannatuusa kiseera kigenda kusuubula byabwe okuva Kampala ne mu Owino mbeera nnina okulindamu bandeetere.

MUKYALA WANGE NAYE MUZIBE Nga mpeza emyaka 30, nali ηηenze Mbale e Nabumali okusoma Kulaani eya bamuzibe ne munnange gye namusanga nga naye azze kusoma. Bakadde baffe baatusisinkanya oluvannyuma lwa bazadde ba mukyala wange okusooka okundaba olwo ne baguma nti, mu ssomero eriyo ne bamuzibe abalala.

Okusoma bwe kwaggwa, abakulu ne batukwataganya ne bamumpa mu butongole. Twasiimagana oluvannyuma lwa buli omu okumanya embeera ya munne era bwe nalaba nga tuli banzikiriza emu, amanyi okukola emirimu ne nsalawo okugenda naye. Nali njagala muzibe munnange kubanga abakazi abalaba nalaba nga bazibu kuba ayinza okukwatibwa ensonyi okukukwata ku mukono mutambule naye mu kkubo n’obutampa kitiibwa.”

OLUKUSENSE LWANJASA EMMUNYE Z’AMAASO Mariam Nabbaale 50, muwala w’abagenzi Harunah Nyondo eyali ow’e Bulenga ne Fatuma Namatovu eyali abeera e Kibuli. Anyumya bwe batambuza obulamu bwabwe mu bwamuzibe: “Twazaalibwa abaana munaana nga nze mukulu.

Amaaso gange gaaziba nnina emyaka mukaaga kyokka nga nazaalibwa malamuSaamanya naye maama yantegeeza nti, ku myezi nga mwenda olukusense lwannuma ne ntwalibwa mu ddwaaliro naye kiteeberezebwa okubeera nga lwaleka lwonoonye emmunye z’amaaso gange.

Nzijukira nali ku ssomero nga sikyalaba bulungi ne banziza awaka era ne bategeeza taata nga bwe nali sikyalaba ne batandika okunzijanjaba. Bantwala mu ddwaaliro ne bankebera wabula abasawo ne bategeeza bazadde bange bwe sikyasobola kuddamu kulaba nga n’akatono akaalimu kaali kaakuggwaamu.

Emirimu ngikola kuba banjigiriza era jjajja buli mulimu gwe yabeeranga akola ng’ampita ne tukola babiri nga bw’ankwasaako.

 TUZADDE ABAANA NE TUBAKUZA

Abaana baffe omukaaga be tuzadde tebakirinaamu buzibu kubanga tubazadde tetubalabyeko era tusobodde okubakuza, era batuyamba we kyetaagisa Emirimu ng’omukyala omuzadde ate alina omwami nsobodde okugikwataganya kubanga kyava waka gye natandikira ku bato bange nga maama abandekera ate n’asanga nga buli kimu kikoleddwa.

Abantu batumanyi tetulina kusoomoozebwa kwa maanyikubanga twakimanyiira omuntu ne bwakuyita muzibe tekikuluma era tuyitaba kuba ate batuyamba. Abaana batutuusaako buli kimu era ne baliraanwa baffe batuyamba naddala ng’abaana tebaliiwo okwewala abayinza okutubba enkoko kuba tuli balunzi.

Nnunda enkoko enzungu ezibeera wakati wa 100 ne 150 okusinziira ku ssente ze mbeerawo nazo nga nzimazeemu emyaka ebiri awatali kubbibwa. Ku baana baffe kuliko omu atawaanyizibwa amaaso, ate abalala bagamba tebalengera bulungi wala wabula bafuna obujjanjabi. Baze akola mu katale awali abakyala ab’enjawulo naye sikifaakomunzimazeemu emyaka ebiri awatali kubbibwa.

Ku baana baffe kuliko omu atawaanyizibwa amaaso, ate abalala bagamba tebalengera bulungi wala wabula bafuna obujjanjabi. Baze akola mu katale awali abakyala ab’enjawulo naye sikifaako.

SISANZE KUSOOMOOZEBWA MU BAZE WADDE BAMUNDABIRA

Twasisinkana Mbale ne baze oluvannyuma lw’abazadde okusiima naffe ne tusiimagana era ne tubeera ffembi ne tutandika obulamu. Tetulina kusoomooza kwe nsanze mu baze kubanga abazadde baffe baatubeererawo mu mbeera yonna nga bakyali balamu, kati twasigaza baana era kati emyaka 30 nga tuli ffembi.

EBIMU KU BITUYAMBYE OKUWANGAAZA OBUFUMBO

1 Okwesiga Katonda kubanga Mungu ye nannyini kusalawo ku buli mbeera ejja mu bulamu bwaffe.

2 Okubeera abagumiikiriza eri buli mbeera.

3 Tukkaanya kuba buli kimu tukikolera wamu newankubadde okunyigana tekubulamu ng’abantu kubanga ebimu bya butonde.

Abantu abamu balowooza tulina ebitusomooza bingi kyokka nga naffe tulaba nga nammwe abalaba mulina ebibasoomooza era ffe bwe tufunamu ekitusobaganya kibeera kitono nga tukimaliriza kuba tetwenkana nga mmwe abalaba.

ABAANA BAFFE BASOMYE

Tusomesezza abaana baffe era kuliko abakuguse mu busomesa n’obusuubuzi. Abaana baffe tutuula nabo ne tubategeeza ku bulamu bw’ensi era tubeeyabiza. Abaana abasinga bava waka era mu nkiiko z’essomero bwe tubeera tuyitiddwa omwana yennyini akutwala ku ssomero n’ogenda okumanya ebigenda mu maaso. Tubakuutira okwetwaala ng’abalamu ne tubalaga nti, abantu abasigadde bonna balwadde kibayambe okusobola okwekuuma n’okwekomako mu buli mbeera. Abaana baffe kuliko Faisal Kalyango, Mubarak Kintu, Aisha Nakyejwe, Asia Nakidde, Luqman Sekidde, Adirah Nabulya ne Ramathan Kabajjo. Tubakuutira okukwatagana, okwagalana, okutulabirira n’okukolagana obulungi n’abantu.

BAZADDE BAFFE BATUBUULIRIRA Aisha Nakyejwe, muwala wa bamuzibe: Ng’abaana abakulu abazadde baffe bafaayo okutubuulirira ku nneeyisa yaffe okuli okweyisa obulungi mu bantu era tufaayo okulaba ng’omukulu alaga ekifaananyi ekirungi eri abato ate ebirala twogera n’abasomesa baffe ne batuyambako.

Tukuze bali mu mbeera eyo nga tebalaba eraffe abalina okubabeererawo nga tubayambako okubaweereza.ffe abalina okubabeererawo nga tubayambako okubaweereza.