Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

By peter ssaava

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Lip1 350x210

LUTIKKO ye Namirembe ewumye eggulo Omulabirizi we Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira bwe yabadde ayawula abadinkoni n’abakadde b’ekkanisa. Okusaba kuno kwatandise ku ssaawa nnya ez’okumakya wakati mu basumba okuyingirira mu nnyiriri.

Diini wa Lutikko ye Namirembe Rev Can Benon Kityo nga ya'buulidde asabye abawule abatikkiddwa okwewala entalo n’abakristaayo nga bakola omulimu gwabwe wabula bafube kubunyisa njiri mu bantu n’okukyusa abakozi b’ebikolobero.

Rev Kityo era akutidde abayawuliddwa n’abasumba abalala bonna okwewala obwenzi naddala mu be bawereza kuba kino kiviriddeko n’endwadde ennyingi okweyongera mu bantu. Abasabye okwewala enguzi kuba eviriddeko eggwanga okudda emabega.

Omulabirizi Luwalira ayawudde abadinkoni 9 ssaako okukakasa abakadde b’ekkanisa 3 okwaabadde ne Rev Steven Lumu omusumba we Namayumba era nga ye mutabani w’omugenzi Luggya Lwasi.

Abakutidde okujjukiranga ebirayiro bye bakoze ate nasaba n’abakristaayo bulijjo okubasabira baleme okukyama okuva mu makubo amatuufu ag’okubuulira enjiri.