Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente bamusibye lwa nguzi

By Musasi wa Bukedde

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde mu kaduukulu lwa nguzi n’obufere nga bamugguddeko emisango 30!

GAVANA
w’ekibuga
Nairobi e
Kenya, Mike
Sonko 44,
ayiwaayiwa
ssente
n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu
gamumyukidde mu kaduukulu
lwa nguzi n’obufere nga bamugguddeko
emisango 30!
Ebyobufuzi temuli mukwano
wadde omulabe wa lubeerera.
Sonko abadde nfanfe wa Pulezidenti
Uhuru Kenyatta. Bwe baali
bamutwala okumuwozesa mu
kkooti y’ensi yonna, Sonko yakwata
mu nsawo n’asasulira abawagizi
buli ekyetaagisa bawerekere
Uhuru e Hague mu Netherlands.
Yalondebwa 2017 ku bwa
Gavana ng’alina obuwagizi
bwamaanyi mu Nairobi wadde
asibuka Mombasa ekibuga ekyesudde
kilommita 480. Bamulanga
kubulankanya ssente ddoola za
Amerika 3,500,000 eza Uganda
12,906,558,434/-.
Ku Lwokutaano lwa wiiki
ewedde, Nairobi yannyogoze
ng’amawulire g’okukwatibwa
kwa Sonko gafulumye. Omwezi
oguwedde akakiiko akalwanyisa
enguzi bwe kaamuyita ku ofi isi
zaako okubeerako bye bamubuuza,
abawagizi be beegugunga ne
beekalakaasa era poliisi yabakubyemu
ttiyaggaasi okubakkakkanya.
Olwa Mmande lwamuddugalidde
bwe baamuleetedde ku mpingu
mu kkooti ya Milimani. Yeegayiridde
Omulamuzi Douglas Ogoti
amuyimbule ku kakalu ka kkooti
agende afune obujjanjabi Omulamuzi
ne yeerema. Yagenze mu
maaso n’amusomera emisango 30
n’alagira bamuzzeeyo ku limanda
ng’amukkirizza okufuna obujjanjabi
naye nga balina kumuggya
mu kkomera bamujjanjabe era
bamuzzeeyo.
Leero kkooti lw’esalawo ku
kusaba kwa Sonko oba emukkiriza
okumweyimirira awoze ng’ava
bweru. Oludda oluwaabi nga
lukulemberwa Gitonga Riungu
ne James Kihara lwasabye kkooti
egaane Sonko okumweyimirira
kubanga mu 1998 baamusiba
n’atoloka mu kkomera lya Shimo
la Tewa ng’alimbye nti agenda
mu ddwaaliro lya Coast General
Hospital kufuna bujjanjabi.
Omulamuzi yalagidde bamujjanjabe
ng’abakulira ekkomera
weebali. Sonko bamuvunaana
n’abalala okuli: Peter Mbugua,
Patrick Mwangangi, Edwin Kariuki,
Lawrence Mwangi, Preston Mwandiki,
Wambua Ndaka, Andrew
Nyasiego. Bonna bakozi mu ofi isi
ez’enjawulo mu bukulembeze
bw’ekibuga nga bavunaanyizibwa
ku kugaba ttenda, okugula ebikozesebwa
n’ebirala.
Pulezidenti Uhuru Kenyatta
yalonda Noordin Haji omwaka
oguwedde okukulira akakiiko
akalwanyisa enguzi nga bw’olaba
Pulezidenti Museveni bwe yalonda
Lt. Col. Nakalema. Haji ye yali
akulira ekitongole ekikessi mu
ggwanga.
ENGERI SONKO
GY’AYIWAAYIWAMU SSENTE:
Sonko musajja mugagga omwejaasijaasi
era ayagala obutaala.
Pulezidenti Uhuru n’omumyuka
we William Ruto bwe baali
batwalibwa mu kkooti y’ensi
yonna, Sonko yateeka ttinti mu
nviiri ng’awandiseemu ekigambo
“Uhuruto Not Guilty” ekitegeeza
nti Uhuru ne Ruto tebalina musango.
Gye buvuddeko baamukuba
ekifaananyi ng’akozesa iPad
n’essimu y’omu ngalo ekika kya
iPhone byonna nga biriko zaabu.
Olulala yalabikira mu vidiyo ng’ali
mu ofi isi ayambadde obugatto
bw’engoye nga busiigeko zaabu
nga kuliko n’obubaka obuvvoola
abamuvuganya mu byobufuzi.
Omwezi oguwedde waabaddewo
okukubaganya ebirowoozo
okwamaanyi ku yintanenti bwe
yataddeko ekifaananyi ekiraga
essowaani kw’aliira emmeere
awaka nga mulimu ekifaananyi
ky’empologoma nga yonna
nsiige langi eya zaabu. Olwawangula
obwa Gavana bwa
Nairobi n’atandikawo ekibiina
ky’obwannakyewa ekya “Sonko
Rescue Team” ng’awadde abantu
bangi emirimu naddala abanaku.
Kino kiyambako abantu abanaku
okutegeka embaga, okuziika
n’okufunira abamu ebyetaago
by’obulamu.
Abakozi baakyo abamu balongoosa
mu kibuga Nairobi
nga bambala obukooti obuliko
langi eyaka ng’erimu ekigambo
“SONKO” mu kifo ky’okuteekako
ebirango ekibuga nga bw’olaba
KCCA mu Uganda bw’ewa abakozi
baayo yunifoomu eziriko akabonero
ka KCCA.
Emmotoka z’avuga ez’ebbeeyi
nazo zibeerako ka langi ka zaabu.
Musajja mugagga ddala alina
emmotoka ezisoba mu 100, alina
ebizimbe, ettaka, ebbaala eziwera
ne kkampuni ezikola emirimu
egy’enjawulo. Ebyobugagga
by’alina bibalirirwamu obukadde
bwa ddoola obusoba mu 120.
Olumu yewaana nti obugagga
bwamukeera kubanga yatandika
okufuna obukadde bwa ddoola
ng’akyasoma siniya. Yagula takisi
ne zitandika okumuweereza ssente
ng’akyasoma era ne kati agamba
nti zimuwa empya n’enkadde.
Omwaka guno nga gutandika
baakimussaako nti abba omusolo
mu bizinensi ze n’ayanukula
ng’aduula nti abaagala banoonyereze
ye akimanyi empapula ze
nnambulukufu.
OBULAMU BWE:
Akuwa obwami abeera akuwadde
kulya. Enjogera eyo yatuukidde
bulungi ku Sonko nga bamusimbye
mu kkooti ku Mmande.
Omuwaabi wa gavumenti obwedda
amusomera emisango nga
bw’amulaga n’ennaku z’omwezi
be yawa ttenda mu Nairobi ne
baweereza ssente ku akawunti ya
Sonko.
Yazaalibwa February 27, 1975 e
Mombasa nga kitaawe ye Gideon
Kioko Kivanguli ne nnyina Saumu
Mukami Mbuvi. Yasoma byabusuubuzi
n’abifunamu diguli.
Ebyobufuzi yabiyingira 2010 ne
yeesimbawo okukiikirira essaza
ly’e Makadara erimu ku masaza
17 agakola ekitundu kya Nairobi.
Oluvannyuma yalangirira nti
ayagala kubeera senator akiikirira
Nairobi era n’akikola n’ateekawo
ejawulo y’amaanyi bwe yawangula
n’obululu 8,000 ng’amuddirira
alina 3000. Abasinga babadde
balowooza akolera bitongole
byakwerinda.