Kkamera ziraze eyabbye emmotoka e Mulago

By Musasi wa Bukedde

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago. Yagivuze n’ebulira mu bitundu bya Mulago.

Bba 350x210

Kkamera y’e Mulago  eyakutte omubbi ono yalaze nga yabadde ayambadde essweeta emmyuufu, empale eya jjiini nga ya bbululu n’engatto enzirugavu. 

Mmotoka gye yabbye ya Micheal Rusoke ow’e Nansana ey’ekika kya Premio  nnamba  UAT 369D gye yabadde asimbye ku mabbali g’ekikomera  okumpi n’omulyango omunene oguyingira e Mulago okumpi n’ekitongole ekikola ku kujjanjaba abalwadde ba kkookolo e Mulago.

Rusoke  yagambye nti yazze ku ddwaaliro ku ssaawa nga 2:00  ez’oku makya ng’aleese  mulamu we, Jemimah Mutegeki  mu kifo we bajjanjabira kkookolo.  “Nakomyewo ku ssaawa nga 6:30 ez’emisana ne 

nsimba mmotoka mu kifo kye kimu. Omubbi ono wano we yasoose okwagala okubbira emmotoka  kyokka n’alemererwa kubanga nayanguye okudda nga bantumye eddagala.

Navuze  emmotoka ne hhenda okukima eddagala  ne nkomawo ku  ssaawa nga 7:30 ez’emisana ne nsimba emmotoka mu kifo kye kimu ne nziraamu okuyingira eddwaaliro.

Mu ddwaaliro namazeeyo essaawa ng’emu ne nkomawo n’omulwadde wabula nagenze okutuuka we nasimbye mmotoka nga teriiwo.

Nabuuzizza ku babbooda abali ku siteegi eriraanyeewo nga bagamba nti tebamulabye.

Nagguddewo omusango gw’obubbi ku poliisi ya CPS ku fayiro nnamba 26/02/10/2019.

Poliisi yaggyeko ebifaananyi ebyakubiddwa  kkamera  ebiri ku nnamba CRB /197 /2019 Mulago  nga biraga omusajja ono bakira eyeetalira mu miti egiriraanye eddwaaliro nga yeefudde akuba essimu  nga yeetalira ku mmotoka eno  okutuusa 

lwe yagimenye n’ayingira. Kkamera zaasoose kumulaga ng’agyegezaamu okugibba wabula n’alengera Rusoke ne yeebuzaabuza n’agivaako.

Kkamera era zaalaze nga bwe yavuze  emmotoka okuva e Mulago  n’ayingira  oluguudo  lwa Mawanda Road nga wano we yabulidde.

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala yagambye  nti bakyakola okunoonyereza okuzuula omubbi ono n’asaba abamumanyi okukolagana ne poliisi okugiwa ebimukwatako.