Eyasuulawo mukyala we emyaka 25 akomyewo n'amukuba empeta

By Musasi wa Bukedde

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Fanda1 350x210

Samson Kayondo 80 ye yakubye mukyala we Joyce Nanyanzi empeta oluvannyuma lw’okudduka gye yali agenze n’akomawo ewa mukyala we omukadde.

Lyabadde ssanyu okuva mu booluganda n’emikwano okuviira ddala ku kkanisa okutuuka ku Fair Mile Hotel e Kanyanya gye baasemberezza abagenyi baabwe. Kayondo yazze atambulira ku kagaali ate Nanyanzi ng’asimba omuggo.

Embaga eno yabadde ku kkanisa ya St. Stephen e Mpereerwe, ng’Omusumba w’e Kanyanya Rev. Fredrick Lubega ye yakulembeddemu okugatta abagole ng’ayambibwako Rev. John Kiyingi Omusumba w’e Mpereerwe.

Rev. Lubega yategeezezza nti Kayondo yamutuukirira n’amugamba nti “mukadde w’ekkanisa nteesa, njagala kukuba Joyce mbaga akiggyemu enjawulo. Rev. Lubega yagambye nti ye ne be yali nabo baabugaana essanyu era ne bategeka olunaku lw’embaga.

Yakuutidde ababiri bano okwagalana ate obufumbo bwabwe bubeemu essanyu nga babutambuliza ku Katonda.

Yabasabidde okubeera abeesigwa ssaako obutaddamu kuyuuga mu mukwano gwabwe omupya kuba bamaze okukuba ebiragaano ne Katonda.

 baana ba akayondo nga banyumya ku bulamu bwabazadde baabwe ku mbaga Abaana ba Bakayondo nga banyumya ku bulamu bw’abazadde baabwe ku mbaga.

 

NANYANZI AYOGEDDE

Nanyanzi yategeezezza nti bba yamufuna mu 1964 nga bba wa ssenga we ye yamumulabira.

Kayondo yali abeera Makindye nga makanika wa mmotoka. Namasole Tekera Wagwa yabawa akafo ku ttaka e Kanyanya bazimbeko ennyumba kuba yali tayagala babeere mu muzigo.

Baazimba mpolampola era mu 1966 ne bayingira ennyumba wadde yali tennaba kuggwa bulungi.

Obufumbo obwali butandise n’essanyu ate bwatabuka bba bwe baamusiba emyaka 13 n’amulekera abaana.

Nanyanzi agamba nti bba aba yaakasibwa emyaka 3 mu kkomera e Luzira, gavumenti ya Obote n’evaako era bba nateebwa wabula yadda awaka nga tewafaananika nga n’ekyokulya banoonya kinoonye.

Yasanga mmotoka ye gye yalina ng’abooluganda baagitunda dda ate nga tewali n’omu ayamba ku famire ya muganda waabwe (Kayondo).

Baabeera mu bulamu bw’okweyiiya wabula nga Nanyanzi agumya bba nti buli kimu kijja kutereera.

 bamu ku baabadde ku mbaga Abamu ku baabadde ku mbaga.

Mu December wa 1994 nga bayingira Ssekukkulu Nanyanzi tagenda kulwerabira kuba bba lwe yamusiibula n’amutegeeza nti afunye omukyala omulala.

Kino Nanyanzi kyamunyiga kuba yali talina mulimu ate nga n’abaana beetaaga okusoma.

Yatandiikiriza okutunda amata mwe yava natandika okulima emmere mu kafo ke baazimbamu ennyumba.

Yayingira mu kutunda kabalagala e Kyanja mwe yasomesa abaana okuli n’omusawo kati Barbara Nassolo.

Nanyanzi agamba nti omusajja yali awuliziganya naye ku ssimu era nga n’abaana bwe babatikkira abeerawo ku mikolo.

Waayita akaseera puleesa n’emukuba nga n’omukyala eyamuddusa awaka anobye olwo abaana ne bamukubira (Nanyanzi) nti kitaabwe alwadde.

Baamukomyawo awaka era bwe yatunula ku Nanyanzi n’agamba nti : Muzaana wangumiikiriza nnyo mu mbeera enzibu era ebirungi byendiko baana bo be babintuusizzaako.

Ekirabo kye nnyinza okukuwa kya kukusiba mpeta.” Kino kyamusanyusa nnyo era y’embaga eno eyabaddewo ku Lwokuna.