'Abakozi mukomye okwemulugunya'

By Joseph Mutebi

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya nti bwe batakyusa ku mpisa zaabwe obwabwe bubakeeredde kubanga tebasuubira kuva ku ddala erisooka okudda ku ddala.

Steelandtubebyjmutebi2 350x210

Abalabudde nti bwe bateggyeemu nkwe, okwevuganya okutalina mulamwa ku mirimu n'agamba nti ne bwe waba nga waliwo ebitatambula bulungi babikwate mpola kubanga mu nsi buli wantu waliwo okusoomoozebwa era bakomye okwegeraageranya ne balala nga tebannatuukayo kubanga buli kintu kiriko ekiseera kyakyo ekituufu.

 

Bino Faaza Kalanzi yabyogeredde ku kitambiro kya mmisa ekyategekeddwa ku kkolero lya Steel And Tube Industries e Namanve mu disitulikiti y’e Mukono, nnannyini kampuni eno, omugagga Joseph Yiga, famire ye okuli mukyala we Regius Yiga n’abakozi be, bwe baabadde beebaza Katonda okubasobozesa ne batuuka ku kkula ly’okufuna engule y’okunywa mu makampuni gonna agakola ebyuma bya “Steel” agasoba mu 500, omwaka guno akendo.

Faaza Kalanzi yagambye nti kkampuni ng’eno ekulembeza Katonda mu buli ky'ekola oba ky'etuuseeko teyinza kulemwa kubeera ku mwanjo ku ndala z'evuganya nazo era n'abasabira omukisa n'omwaka ogujja Katonda ayongere okubakolera ebyamagero ebisinga ne kkampuni endala mu “East Africa”.

 

Yawadde bannannyini kkampuni nabo okukwata abakozi bulungi nga Yiga bw'akwata ababe ekyatuuse n’okumusobozesa okuwangula engule essatu omwaka guno okuli “Kampuni eyasinze okwoleesa ebyuma bya ‘Steel’, okukola ebyuma bya ‘Steel’ eby’omutindo gattako okukola ebyuma bya ‘steel’ ebivuganya ku mutindo gw’ensi yonna.

Omugagga Yiga yasiimye abakozi be okubeera n’omutima gwa kkampuni buli muntu n'agitwala nga eyiye ssaako n’okukulembeza Katonda mu buli kye bakola kubanga ne bw’okola okufiirawo nga Katonda takkiriza obeera omaze biseera.

“Ffe kkampuni eno twagitandikira ku musingi gwa Katonda era kwetugitambuliza buli kye tukola tukulembeza Katonda ,” bw'atyo Yiga bwe yategeezezza.