Mukyala wa Lyto Boss asulirira kuzaala

By Musasi wa Bukedde

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Lytobosswife4 350x210

Banange ebya ddala kasamba! Olwo no nga Lyto Boss ali ku lubuto lwa mukyala we Cissy Nanyonga awuuliriza,  tekyamumalidde kwe kuyita mutabani we naye ajje awulirie.

Ye Nanyonga kate afe essanyu banne bwe  bamutegekedde akabaga akamwagaliza okuzaala obulungi n’okwaniriza bbebi(Baby Shower).

 issy nga asala keeki Cissy nga asala keeki

Akabaga kano kabadde ku wooteeri ya Brifsk mu kiro ekikesezza leero, baamuleese tategedde nga bamulimbye nti balina omukolo gwe bagendako kyokka kyamubuuseko okutuuka mu kifo kino nga alaba mikwano gye n’ab’oluganda bokka be bamwaniriza n’okumwagaliza okusumulukuka obulungi.

Wakati mu ssanyu yeebazizza mikwano gye okumulowoozako ate mu mbeera ey’enjawulo ne yeebazza Lyto Boss okumwagala ennyo.

 yto oss issy ne mutabani wabwe Lyto Boss, Cissy ne mutabani wabwe.

Mukwanukula Lyto Boss amusuubiza nga bwatagenda kumugattako mukyala mulala nga abasajja abalala bwe bakola era nategezezza nga okuva bwe yafuna Cissy obulamu bwe bwatereera.

Lyto Boss ne Cissy bateekateeka kuzza mu mutabani  wabwe gwe balina era eky’okuba nti omwana gwe bagenda okuzaala muwala kyacamudde nnyo Cissy bakira agamba nti mutabani wange agenda kufuna mwanyina
gwanazaanya nga naye.