Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah Penny kabadde nga kivvulu.

By Musasi wa Bukedde

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Ritahpenny1 350x210

Wadde teyayogedde myaka gye bakira abamubuuza abaddamu kimu "ndi muntu mukulu" Ritah Penny abamu gwe bayita maneja w’abayimbi olw'abayimbi bazze akwata ku mukono n'okubayamba okutumbula ebitone byabwe,

olunaku lw’eggulo ajja kulwawo okulwerabira mikwano gye nga bakulembeddwamu Sophie Love bwe bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

 itah enny nga abuuza ku mikwano gye Ritah Penny nga abuuza ku mikwano gye.

Akabaga kano ke bamusuddeko nga tategedde kabadde ku Papaz spot e Makindye ku Lwokutano ekiro.

yabadde yakatuuka ne wabawo abamuyira amazzi nga abantu abamu bwe bateera okukola ekyamunyizizzamu wabula oluvannyuma ekyo yakivuddeko ne yegatta ku mikwano gye okumujagulizako amazaalibwa ge.

 itah enny ophie ove ku ddyo ne eter eleb ayimiridde Ritah Penny, Sophie Love( ku ddyo) ne Peter Celeb ayimiridde.

omu kw'omu obwedda buli akwata akazindaalo amusiima kuba na mutima omugabi era omulungi ate abalala nti muntu wa bantu.

omukolo wabadde oyinza okuguyita ekivvulu olw’abayimbi abangi abaleeteddwa okusanyusa omugole w’olunaku ne mikwano gye.

abayimbye kwabaddeko n’abayimbi nga King Saha, Mary Bata, Omulangira Ssuuna, Izon T n’abalala.

 mulangira suuna ngayimbira itah enny Omulangira Ssuuna ng'ayimbira Ritah Penny