Ebyokwerinda binywezeddwa mu Kira

By Musasi wa Bukedde

ABOOBUYIZA nga bakulembeddwaamu RDC wa Kira, Joseph Ssekasamba Muhoozi, bongedde aba LDU mu munisipaali eno okunyweza ebyokwerinda.

Lt. Twaha Ssali akulira enkambi za Kasangati ne Kira asabye abakulembeze b’ebyalo okukolagana obulungi n’aba LDU be babawadde era n’abakuutira nti, singa wabeerawo obuzibu mu kitundu oba enneeyisa embi okuva gye bali, bagoberere emitendera batwale ensonga eri abakulu okuviira ddala mu bakulembeze ababatwala.

Agambye nti, bagenda kugaba aba LDU 320 nga batuukiriza ekiragiro kya Pulezidenti. RDC Ssekasamba asabye aba LDU bano obutagattika byabufuzi n’ebyokwerinda kubanga abeebyokwerinda tebaba na ludda bagoba nsonga.

Ate Mark Sserunjogi ssentebe w’omuluka gw’e Kimwaanyi agambye nti, kye bakoze kigenda kwongera okumalawo obubbi mu kitundu, n’obuzzi bw’emisango obw’enjawulo n’asaba aba LDU baleme kukozesa bubi kyambalo kyabwe n’emmundu okwonoona erinnya lyabwe.

DPC w’e Kasangati, SP Benson Muhangi agambye nti omulimu gw’okukuuma abantu gwanguwa bakwataganye.

Asabye abakulembeze b’ebyalo obuteenyigira mu kubba ttaka, wabula bakirwanyise.

Omukolo guno gwabaddeko ssentebe wa divizoni ya Kira Gerald Kizito, omumyuka we Pafras Mugooha, kkansala Shamim Nalwanga ne Bbaale Ahmed bassentebe b’ebyalo abava mu muluka gw’e Kimwanyi ne Kira.

Aba LDU bano baakugabibwa mu byalo 17.