Ab'e Kawempe beekokkola kazambi abakulukutiramu

By Moses Lemisa

EMIDDUMU gya kazambi egimaze ebbanga nga tegikolwako gitabudde abatuuze b’omu kawempe olw’ekivundu ekigivaamu.

Sewage1 350x210

Bya MOSES LEMISA

EMIDDUMU gya kazambi egimaze ebbanga nga tegikolwako gitabudde abatuuze b’omu Kawempe olw’ekivundu ekigivaamu.

Mu bitundu by'e Kawempe ebyenjawulo buli w’oyita osangawo omuddumu gwa kazambi ogukulukutira mu mayumba g’abantu, mu myala ne mu nguudo ng’abatuuze bagamba okuva mu November w’omwaka oguwedde kazambi y’abamalako emirembe nga bazze balaajanira b’ekikwatako ne batayambibwa.

alt=''

 

Obuzibu buno buli e Mpererwe, Bwaise, Kawempe kuttaano, Mulago, Makerere Kavule, Kyebando n’ebitundu ebirala ng’emiddumu egisinga tegiriiko bisaanikira abatuuze bye bagamba nti abakozi abavunaanyibibwa ku kazambi baabijjako ne babitwala tebabizzanga.  

Jackie  Namukwaya omutuuze w'e Mulago yagambye nti abalina bizinensi okumpi n’emiddumu gya kazambi tebakyakola naddala abatunda eby’okulya ng’ekisinga okwewuunyisa  aba National Water and Sewage Corporation baabategeeza naye okuva omwaka oguwedde tebabikolangako.

Yagasseeko nti beeraliikirivu nti bandifuna endwadde eziva ku bucaafu kuba n’abaana bazaanyiramu.

 

Sam Lubowa, omumyuka wa  ssentebe mu Kiggundu zooni yategeezezza nti  mu muluka gwa Makerere III balina emidumu gya kazambi egiwerako egirudde nga gikulukutira mu batuuze ng’egimu tegiriiko bisaanikira nga baatwala dda okwemulugunya kwaabwe mu ofiisi ekwatibwako ne batayambibwa.

 

Omulangira Herbert Kimbugwe ssentebe w’omukuka gw'e Komamboga  yategeezezza nti bakooye okwogera ku nsonga ezinyigiriza ebintu ate abamu ne bazitwala ng’eby’obufuzi , yagasseeko nti kazambi yandibadde takulukutira mu bantu singa abamuvunaanyizibwa bakola emirimu gyabwe mu bwerufu.