Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January

By Joseph Mutebi

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January

Gd1 350x210

Sheik, Nuhu Muzaata asisinkanye abagagga okubadde Hamis kiggundu ne Godfrey Kirumira n'abasonseka obugambo okukkakkana ng'abaggyemu ensimbi.

Muzaata eyabadde omu ku bagenyi ku kabaga ka bba w’omuyimbi Rema Namakula, Dr Hamzah Ssebunya bweyalabye abagagga Hamis Kigunddu  Ham ne ssentebe w’abagagga Godfrey Kirumira n'atandika okubacoomera nti abagagga mulye nga ku ssente zamwe, ate mwambaleko  bulungi n’abantu abalala abalina obwetavu nabo mu baawe ku ssente beyagale.

Ebigambo bino byasonsomodde omugagga Kirumira ne Ham  bwe baamuyise okwogerako eri abantu n'awaana Muzaata okwogera obulungi era n'amusuubuza okumuyita olunaku lumu ayogereko eri bagagga banne abeerumya ng’ate ssente bazirina naye ekirungi ye ne Ham bakitegeera dda  Muzaata kyayogera era nga mmotoka ze bavuga n’amayumba ge basulamu gamala okukakakasa Muzaata ky'ayogerako

Amangu ago Kirumira yaggyeyo akakadde k’ensimbi nga kamutwalo mutwalo n'akasonseka Muzaata n’afa essanyu nga ne mukyala we wali alaba era nayita ne Ham naye namusonseka akakadde akalala  olwo mu ddakika kkuumi zokka10 Muzaata yabadde asinga omuntu akola omwezi mulamba nga bamusasula 500,000/- ng’ate alina diguli.

Amangu ddala Muzaata yagudde abagagga bano mu kifuba n’abawaana nga bwebabitegera okukamala