Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

By Musasi wa Bukedde

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Rwe11 350x210

Bya Florence Tumupende

LWENGO teridamu kufuna mubaka muteesa nga Gertrude Nakabira bwa yatesanga era n'emu byafaayo by'eggwanga atulekeddewo essomo lye tulibuulira abaana baffe nti twalinako wano omubaka ateryanga mu ttama era yasigala mu mawulire.

Ebigambo bino Rev.Fr John Baptist Kintu ow'ebyemirimu mu Greater Masaka byeyatuukiddeko nga tanayimba missa era nga yabyogeredde mu maka omugenzi Nakabira geyasookeramu ne bba Emmanuel Wasswa Lubega agasangibwa ku kyalo Kibengo mu disitulikiti ey'e Ssembabule.

Fr.Kintu yanyoleddwa ku kyokufa kwa Nakabira gwe yanyumiriza abakungubazi nti abadde abeyagaza era ng'abaweesa ekitiibwa nga yadde yali yawangulwa akalulu k'abasajja aka Bukoto-South ekyo kyali kiraga nti nabo asobola okubavuganya olw'obukozi bweyalina.

Mungeri y'emu omugenzi abadde ayagala ennyo ediini ye era ng'ateeka ba faaza ku nninga okumuwa akatabo ka' OLDO' akasomebwa ba faaza mu missa ya buli lunaku nga kyayayanira kwekumanya ebyawandikibwa ebisomebwa nga bw'abeera mu missa aba aze kubugumizibwako bubugumizibwa nga buli kimu ekigenda maaso akamanyi.

Fr.Kintu agambye nti tajja kwerabira bukozi bwa Nakabira nga ne bweyali akulira eby'enjigiriza e Ssembabule era teyayosanga kyokka nga n'emirimu gy'eddiini n'awaka tajeerabidde.

Omugenzi alese ekibiina ky'a maria omusaasizi kyabadde atandise mu lwengo ate nga akiririza mu Yuda Tadeo omutuukirivu gwalama buli mwaka mu bitundu bye Kalungu. Asabye abakungubazi okumusabiranga aleme okwerabirwanga