Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde mu Amerika

By Musasi wa Bukedde

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.

Titi 350x210

Kyaterekera mutuuze w’e Kanyanya mu Kitambuza Zooni. Nnamwandu w’omugenzi James Kirumira. Yazaalibwa August 20, 1951.

Yalwala kansa wa nnabaana, era ku ntandikwa ya January, abaana be ne basalawo okumutwala mu Amerika mu ddwaaliro lya Mass General Hospital e Boston mu Ssaza ly’ Massachusetts okwongera okumujjanjaba.

Abasawo baazuula ng’alina kkansa emyezi mukaaga egiyise. N’ajjanjabirwa ku Platinum e Wandegeya, e Nsambya n’e Mulago mu Cancer Institute.

Muwalawe, Immaculate Kirumira yategeezezza nti omulambo gutuuka ku Lwakubiri nga January 28, 2020 okuva mu Amerika.

Wajja kubaawo okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Kyaterekera mu kkanisa ya St John’s Kanyanya Church of Uganda ku Lwokusatu nga January 29, 2020.

Omulambo bwe gunaggyibwa mu kkanisa gujja kutwalibwa mu maka ge e Kanyanya gye gunaasula olwo aziikibwe ku Lwokuna nga January 30 e Ttula-Kawempe okumpi n’ekkanisa ya St John’s Ttula Church of Uganda ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo.