Bayisizza bajeti ya bukadde 200 okuziika maama w’omugagga

By Musasi wa Bukedde

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa ewa Kisekka era bagagga banne ku kakiiko akategesi ne bayisa ensimbi obukadde 200 okukola ku kuziika.

Kolayo 350x210

Omugenzi Malita Ndagire yayabise omusuwa ogutambuza omusaayi okuva ku mutwe okugutwala mu mutima. Yafiiridde ku Case Hospital ku Lwokutaano ku makya.

Olukiiko olukola ku kuziika lutuulako abo bokka abalina ebizimbe n’amaduuka agasuubuza mu Kikuubo, Nabugabo, Shauriyaako n’abatuusa ebyamaguzi mu ggwanga.

Abagagga okuli Vincent Kagambo, Hajji Ssemakula, Ronald Kirumira n’abalala be baabadde mu mitambo gy’okukola embalirira eno.

Olwawulidde nti Kayongo omukulembeze mu bibiina eby’enjawulo omwegattira abasuuubuzi afiiriddwa, ne beeyiwa ku wooteeri ye we batuuza enkiiko Kayongo ne muganda we Isaac Nsereko naye omugagga w’e Bugoloobi , baasazeewo omugenzi bamutereke nga bwe bateekateeka n’okulinda baganda baabwe abali mu Amerika.

Bakkiriziganyizza okumuziika ku Lwomukaaga nga February 22 omwaka guno.

Kayongo yagambye nti baategese okusaba okw’enjawulo mu Kampala okugenda okubeera mu kkanisa ya St. Stephen’s Church e Kabowa ku ssaawa 6:00 ez’emisana ku Lwokuna nga February 20, 2020.

Oluvannyuma omugenzi ajja kutwalibwa mu maka ge agasangibwa ku kyalo Buyamba e Rakai mu Kkooki nayo gye bategese okusaba okw’enjawulo .

Kayongo ali ku lukiiko olukola ku by’ensimbi mu bwakamuswaga bwa Kkooki era abakungu bonna basuubirwa ku mikolo gy’okuwerekera omugenzi Ndagire. Olumbe lukumiddwa mu maka ga muganda wa Kayongo, Isaac Nsereko e Bugoloobi.