Abasawo badduse mu ddwaliro e Ssembabule lwa Corona Virus

By Musasi wa Bukedde

Abasawo badduse mu ddwaliro e Ssembabule lwa Corona Virus

Dr1 350x210

ABATUUZE e Sembabule bali mu bweraliikirivu oluvannyuma lw'omuwendo gw'abateeberezebwa okuba n'akawuka ka Corona virus akaleeta ekirwadde kya COVID 19 okutuuka ku bantu 14 nga ku baleeteddwa ku dwaliro eSembabule okwekebejjebwa kuliko abaava e Dubai ,Rwanda ne Tanzania.

Abazuuliddwa kuliko abajjiddwa eMateete, Sembabule Town council ,Ntuusi ne Kyeera- Lwemiyaga.Akulira eby'obulamu eSembabule alaze okusoomoozebwa okuliwo ng'abasawo mu malwaliro okuli erya Ntuusi batidde okukwata ku bantu bano ng'abamu badduse ku mirimo n'agamba nti nga Sembabule tebalina bikozesebwa kukola ku balwadde nga tewali na bifo webateekebwa okumala ennaku 14 eza kalantiini ekiyinza okwongera obulwadde.

Bbo abebyokwerinda abeegattiddwako abamagye okuva eKasijjagirwa nga bakulembeddwamu Major Jean Rukiira batandikiddewo ebikwekweto nga eLwemiyaga baggadde ebifo n'amaduuka okutali mazzi ga kunaaba mu ngalo n'abaggudewo amabaala saako abazannya pool nga abawerako bayisiddwaamu ne kibooko.

 
Bano basookedde mu lukiiko lw'ebyokwerinda oluyitiddwa Omubaka wa Pulezidenti eSembabule Nickson Kabuye nga basazeewo okuggalawo ebifo byonna ebikungaanya abantu abangi nga tebatalizza bafumba mere ku makubo n'abasiika chapat