Omubaka Kafeero bamukebedde obulwadde bwa Coronavirus

By Henry Nsubuga

Omubaka Kafeero bamukebedde obulwadde bwa Coronavirus

Loga2 350x210

Omubaka w'e Nakifuma mu palamenti Robert Kafeero Ssekitooleko agamba nti oluvannyuma lw'okubeera ewaka ennaku mwenda bukyanga ava e Dubai ng'akozesa ennyonyi ya Ethiopian Airlines, olwaleero ekibinja ky'abasawo okuva mu Minisitule y'eby'obulamu kimusanze mu maka he ne bamukebera n'abantu b'abeera nano ewaka era ne basangibwa nga tebalina kirwadde kya COVID 19.

Kafeero okukola kino kiddiridde sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga okuyisa olukalala lw'ababaka be yagambye nti tebalina kulinnya ku palamenti olw'okuba bano baaliko e Dubai mu bbanga eritaweza wiiki bbiri.

Kafeero agambye nti oluvannyuma lw'okukwberebwa n'atasangibwa na kirwadde kino, alagiddwa asigale ng'akyali waka okutuusa nga ziweze ennaku 14.