Poliisi e Mukono ekedde kulwagana na ba bboodabooda

By Henry Nsubuga

Poliisi e Mukono ekedde kulwanagana na ba bodaboda abagaanye okuteeka mu nkola ekiragiro kya pulezidenti ekiyimiriza ebidduka ebisaabaza abantu okukomya okukola n'okutandika n'olwaleero.

Goba1 350x210

Abamu ku babodaboda baweweenyuddwa kibooko ne pikipiki zaabwe ne zikwatibwa ne zitwalibwa ku poliiisi y'e Mukono.

Embeera bweti bw'eri ne mu kabuga k'e Mbalala ng'eno poliiisi pikipiki bazitutte ku poliiisi y'e Mbalala.

Bbo aba takisi baagondedde ekiragiro kino era teri wadde n'emu eyakoze. Endala zisangiddwa nga zaasimbiddwa mu paaka yaazo e Mukono.

Abantu abaakedde nga baluubirira okutambula nga bagenda mu bitundu okuli Lugazi, Jinja, Mbale n'ewalala bakonkomalidde ku bakubo tebalaba abatwalako.

Kitegeerekese nti ab'obumotoka obutono abayimirira okubatwala e Mbale basaba wakati w'emitwalo 5-10, e Jinja 25000 n'e Lugazi mutwalo.

Abantu bagamba nti pulezidenti aveeyo ayimirize bbanka okukanda abantu ssente za looni kuba ze zibatadde ku bunkenke ne bava ewaka okujja okukola.