Poliisi eyodde aba bboodabbooda ne takisi e Nateete

By Musasi wa Bukedde

Abasaabaze ku nguudo okuli; Nakawuka, Mityana ne Masaka Road, bakedde kukonkomalira ku makubo oluvannyuma lw'abeebidduka by'olukale naddala aba takisi okuteeka ekiragiro kya pulezidenti mu nkola.

Kizza1 350x210

BYA MARTIN KIZZA

Ku lw'okusatu, Pulezidenti Museveni yaayimirizza entambula y'olukale yonna okumala ennaku14, mu kaweefube w'okulwanyisa obulwadde bwa COVID-19 obufuuse ekizibu mu nsi yonna.

Kino kiteereddwa mu nkola era paaka omubeera takisi ezisaabaza abantu ku luguudo lw'e Masaka okuli; ey'e Nakawuka, ey'e Masaka esangibwa ku nkulungo y'e Busega, ey'e Mityana esangibwa e Busega zonna nzigale.

Abantu abaakedde okutambula baakedde kukonkomalira ku makubo n'engugu zaabwe nga tewali ntambula.

Wadde ng'abagoba ba bodaboda nabo baayimiriziddwa okusaabaza abantu, naye abamu bagufudde mugano okutambuza abakonkomalidde ku makubo.

Ku luguudo lw'e Masaka, boda etikka abasaabaze babiri ku 80,000/- buli omu, ate ku lw'e Mityana nayo gutyo, batikka babiri ku 60,000/- buli omu nga zino abasaabaze baazisasula tebannalinnya, nga singa embeera etabuka mu kkubo owa boda asigala tafiiriddwa.

Bakira abasaabaze pikipiki bazirinnya balwana naye nga nazo ezikola ntono.

Tulafiki ekutte Takisi ezikola

Poliisi y'ebidduka e Nateete ekoze ekikwekweto ku ntambula z'olukale okuli; Baasi ne Takisi nga bakira ezitisse  abasaabaze abasaabaze babaggyamu nezisimbibwa ku poliisi e Nateete tezikkiriziddwa kweyongerayo.

Embeera mu Katale k'e Nateete

Abasuubuzi mu katale k'e Nateete nabo ekiragiro kya pulezidenti bakitadde mu nkola, amaduuka gonna n'abasuubuzi abatatunda byakulya amaduuka gaabwe n'ebifo webakolera biggale, mulimu batunzi ba mmere bokka.

Bbo abasaabaze bakukkulumidde gavumenti olw'obutabawaayo kadde kutambula ne balyoka bateeka ekiragiro mu nkola.

 

alt=''