Kenzo awangudde engule endala

By Musasi wa Bukedde

Kenzo awangudde engule endala

Ken1 350x210

EDDY Kenzo amenye likodi endala. Abadde akyalaajanira gavumenti emukkirize okudda kuno okuva mu Ivory Coast kalantini gye yamusanga, omuyimbi Eddy Kenzo afunye ku ssanyu bw’asiimiddwa ab’omukutu gwa Youtube ng’omuyimbi Munnayuganda asinza abagoberezi abangi ku mukutu guno.

Eddy Kenzo ayongedde okulaga amaanyi mu nsiike y’okuyimba bw’awezezza abagoberezi abasukka mu kakadde akamu ku mukutu gwa Youtube ekyavuddeko ab’omukutu guno okumuwa engule ya zzaabu eweebwa abawezezza omuwendo guno. Yeegasse ku Diamond Platnumz, Rayvanny ne Harmonize abaaguweza edda.

Kenzo azze akola ebyafaayo ku mukutu guno okuli oluyimba lwe olwa Sitya Loss okuba oluyimba lwa Munnayuganda olukyasinze okulabibwa abantu abangi. Emabegako baafulumya ensengeka y’ennyimba za Bannayuganda 10 ezikyasinze okulabibwa ku mukutu guno nga Kenzo alinako 9 ne Jose Chameleone lumu.

Omukutu gwa Youtube gusasula okusinziira ku bintu by’oteekako n’abagoberezi b’olinako ekitegeeza nti Kenzo mu kiseera kino y’omu ku basinga okufuna ssente ku mukutu guno