Pulezidenti asasulidde Kasule owa Afrigo ez’obujjanjabi

By Musasi wa Bukedde

Pulezidenti asasulidde Kasule owa Afrigo ez’obujjanjabi

Bam1 350x210

SAID Kasule (atudde), omufuuyi w’omulere mu kibiina kya Afrigo Band yafunye essanyu ku Mmande bwe yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Corsu e Ntebe asobole okujjanjabwa essaabiro.

Ono yawerekeddwaako Moses Matovu (ku ddyo) akulira Afrigo ne James Wasula eyali akulira ekibiina kya UPRS.

Baategeezezza nti balina essuubi nti agenda kuwona essaabiro erimaze emyezi mwenda nga limutawaanya okuva lwe yagwa mu kinaabiro. Ssente z’obujjanjabi ziweereddwaayo Pulezidenti Museveni.

Ssaabavvulu Balaam (owookubiri ku ddyo) eyabaddewo ku lw’omukulembeze w’eggwanga yategeezezza nti Pulezidenti Museveni yeewaddeyo okubeera nga okusasula ebisale bya Kasule byonna eby’eddwaaliro okutuusa lw’anaawona. Ku ddwaaliro baageze n’ebisale bya bukadde 18.