Engeri gye weerabirira ng’oli lubuto y’esalawo obulamu bw’omwana wo

By Ruth Nazziwa

Omukugu mu kujjanjaba endwadde z’abakyala, Dr. Emmanuel Bukalu agamba nti omwaka guno baagala okwongera okujjukiza abakyala abali embuto ku biki bye balina okukola okusobola okusumulukuka obulungi.

Soma1 350x210

Eggi ly’omukyala bwe lyegatta n’enkwaso z’omusajja kitegeeza nti omukyala afunye olubuto era y’entandikwa y’obulamu bw’omwana oyo. Eno y’ensonga lwaki buli mwaka wakati w’ennaku z’omwezi 8 ne 14 February, Uganda yeegatta ku nsi yonna okusaasaanya enjiri ekwata ku kuzaala.

Omukugu mu kujjanjaba endwadde z’abakyala, Dr. Emmanuel Bukalu agamba nti omwaka guno baagala okwongera okujjukiza abakyala abali embuto ku biki bye balina okukola okusobola okusumulukuka obulungi.

WEETEGEKERE OMWANA

Tulina okutandika okwetegekera omwana okuva mu kiseera ky’ayingiriddemu mu lubuto okutuusa lw’azaalibwa. Okukola kino, olina okutandikirawo okunywa eddagala mu ddwaaliro nga kino okikola waakiri emirundi ena okutuuka lw’ozaala. Kino kisobozesa abasawo okwekenneenya n’okulondoola obulamu bwo n’obw’omwana ali mu lubuto.

OMWEZI OGUSOOKA

Mu mwezi ogusooka, bw’otuuka mu ddwaaliro, omusawo alina okukebera akawuka ka siriimu, obuzito bwo, puleesa, obungi bw’omusaayi gwo, obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis) ebika byonna n’endwadde z’ekikaba.

Endwadde zino zisinga kukosa bakyala abalina embuto era okuzikebera kituyamba okumanya bwe tuyinza okukujjanjaba ne zirema kukukosa n’omwana. Era buli luvannyuma lwa myezi ebiri oba esatu tuba tulina okukulaba okusobola okulondoola obulamu bwammwe bwe buyimiridde.

Bw’oweza wiiki 12 ne 16 Okomawo mu ddwaaliro abasawo okwekenneenya okulaba omwana bw’akula, bw’azitowa n’omusaayi gw’olina okulaba nga gumala.

Oddamu okukeberebwa akawuka ka siriimu okumanya oba okyali mulamu era bw’obeera nako, otandikirawo eddagala n’okujjanjaba yinfekisoni zonna eziba zikukutte mu kiseera ekyo.

Wakati wa wiiki 28 ne 30 Omusawo annyonnyola nti, wano we bakeberera obutonde bw’omwana okumanya oba muwala oba mulenzi, enkuba y’omutima, yeekyusa era atunudde wa oba yeebase atya?

Mu kiseera kye kimu, bakuwa eddagala eritangira omusujja, ery’omusaayi, tetenaasi, ery’ebiwuka. Baddamu okupima puleesa, obuzito bwo, omusaayi era n’ojjanjabibwa okusinziira ku bye bazudde.

KU WIIKI 34 NE 36

Mu kiseera kino tukuba pulaani gy’oyagala okuzaalira. Tukukebera amagumba ga bbunwe okulaba bw’onoozaala. Tugendera ku buwanvu bw’omuntu era abakyala abampi, beetaaga okuzaalira mu malwaliro amanene kuba babeera n’amagumba mafunda ekiyinza okulemesa omwana okuyitawo.

ENDWADDE Z’OBA WEEWALA

Dr. Bukalu annyonnyola nti, waliwo endwadde ezitabuka oba ezikwata maama ng’ali lubuto z’olina okwerinda.

Mu zino mulimu:

1 Omusujja gw’ensiri: Dr. Godfrey Ssekabira agamba nti, omusujja gw’ensiri gwa bulabe ku woolubuto kuba obuwuka buno bwekweka mu butoffaali obutambuza omusaayi mu nabaana. Manya nti, obutoffaali bwe bumu bwe butambuza ebirungo ebiriikiriza omwana mu nabaana naddala empewo ey’obulamu. Noolwekyo omwana tafuna mpewo nnungi emala okusobola okukuza obwongo, amawuggwe, omutima n’ebitundu ebirala. Kino kiyinza okuvaako okuzaala omwana omutono, olubuto okuvaamu oba omwana okufi ira munda.

2 Puleesa: Dr. Bukalu agamba nti, puleesa ya maama bw’eyitirira okulinnya eyabya obusuwa obutono obugabirira omusaayi mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo ekigulemesa okutuuka ku mwana obulungi. Maama bw’atuuka mu mbeera eno, omwana aggyibwa mu lubuto ne bamubikka ssinga aba awezezza wiiki 28. Ekibi bw’aba tannaziweza, kizibu okumubeezaawo kuba amawuggwe n’omutima biba tebinnakula bulungi kumusobozesa kutandika kussa bulungi.

3 Ssukaali: Obulwadde buno bunafuya emisuwa egitambuza omusaayi kubanga buleetera amasavu amabi okwekwata ku bisenge by’emisuwa ekivaako okufuna. Mu mbeera eno, omwana tafuna musaayi gumala n’azaalibwa nga mutono oba nga munene ekisusse.

4 Endwadde ezirinnyisa ebbugumu mu mubiri naddala mu lubuto: Ezimu ku ndwadde zino mulimu endwadde z’omu musulo (UTI), ez’ekikaba nga kabootongo; omusujja gw’omu byenda, omusujja gw’ente, ekifuba n’endala nnyingi.

Ebbugumu ly’omubiri bwe lirinnya ne lituuka ku diguli 40 (40oC), ebitundu by’omubiri byonna bisirika era mu mbeera eno omuntu ayinza okwesika oba n’afa kuba obutoffaali bw’omubiri tebusobola kukolera mu mbeera eyo sso nga n’omubiri gw’omwana tegusobola kulikkakkanya ekivaamu okufa