Ebivaako owoolubuto okulumwa embiriizi

By Olive Lwanga

ABAKYALA abamu bwe bafuna embuto bakyukakyuka mu mbeera zaabwe nga bafuna obulumi obutali bumu mu bitundu eby’enjawulo.

Pali 350x210

ABAKYALA abamu bwe bafuna embuto bakyukakyuka mu mbeera zaabwe nga bafuna obulumi obutali bumu mu bitundu eby’enjawulo.

Nga muno mulimu okulumwa mu mbiriizi. Dr. Resty K. Birungi ow’eddwaaliro ly’e Lubaga agamba nti abakyala okulumizibwa mu mbiriizi kiva ku bintu ebitali bimu nga;

1. Buli mwana lw’agejja ne nnabaana yeeyongerako ng’agezaako okugaziya ekifo omwana w’anaakulira. Obuzito obwo buvaako embiriizi okukuluma.

2. Omwana ali munda ssinga abeera nga munene kiyinza okuvaako embiriizi okukuluma.

3. Enkyukakyuka mu mpulirizo z’omubiri: Ssinga obusimu bwa Prosterone bweyongera mu mubiri kiyinza okuvaako embiriizi okukuluma. Kino kitera okubaawo ng’omukyala anaatera okuzaala.

4. Amabeere okweyongera okugejja. Ezimu ku nkyukakyuka ezibeerawo ge mabeere okugejja. Gagejja nga geetegekera ekiseera ky’okuyonsa era gayinza okuvaako obulumi mu mbiriizi.

5. Obukoowu ng’onootera okuzaala ekiyinza n’okuvaako okufuna obulumi obutali bumu.

6. Endwadde eziva ku bujama oluusi butandikira ku bulumi bw’omundira. Ssinga bubeera tebujjajabiddwa buyinza okuvaako ensigo okulwala wamu n’okulumwa mu mbiriizi.

Engeri gy’okkakkanyamu obulumi buno.

1. Okwambala engoye eziwewuka nga ziyitamu empewo bulungi.

2. Okwesigama ku mugongo kiyambako okukkakkanya obulumi mu mbiriizi. Kikendeeza ku buzito obuva ku mabeere.

3. Osobola okwegolola nakyo kiyinza okuyambako .

4. Kozesa obutto weezizike nga weebase. Kikkakkanya obulumi mu mbiriizi era oteeke n’obutto obulala wakati mu bisambi.

5. Tambulatambulamu oleme kwekuumira mu kifo kimu.

6. Weebakire ku njuyi zombi, okwebakira mu mbiriizi buli ludda nga bw’okyusaamu kijja kuyambako okukkakkanya obulumi.