Abasawo balabude ku kuwa abaana abawere amata g'ente

By Ruth Nazziwa

Abasawo balabudde bamaama ku kuwa abaana abawere amata g'ente nga bagamba nti ga bulabe eri abaana bano.

Mwanaayonkamarch142018forweb 350x210

Dr. Violette Nabatte, omusawo w'abaana eyeebuuzibwako ku ddwaaliro lya Mildmay Uganda yagambye nti newankubadde abaana bangi abakulidde ku mata g'ente naye abazadde babadde bagabawa mu butamanya era angi bamaliriza bafunye obuzibu mu lubuto ekibaleetera okukaluubirizibwa mu kufuluma. 

Yagambye nti, amata gano galimu ebirungo ebigumu ebikaluubiriza ebyenda by'omwana okumenyamenya ekivaako okufuna amabwa mu lubuto. Kino kiyinza okubateeka mu bulabe bw'okufuna akawuka ka siriimu naddala nga yazaalibwa maama akalina ssinga abeera amuyonsa.

Yakubirizza abazadde okuyonsa abaana baabwe awatali kubawa kyakulya oba ekyokunywa kyonna nga tebannaweza myezi mukaaga.

Era oluvannyuma lw'ekiseera ekyo, ddayo mu basawo bakuwabule ku ngeri gy’osobola okugabirira omwana wo n’akula bulungi.