Lwaki embuto ze nfuna zivaamu?

By Ruth Nazziwa

Buli lubuto lwe nfuna luvaamu ku myezi esatu, nkole ntya okubuusa ku mwana?

Lubuto0013useweb 350x210

 

Mu myezi esatu egisooka, tusuubira okuba ng’omwana atandise okutonda era ebiyinza okutaataaganya olubuto luno biwerako ekivaako olubuto okuvaamu. Mu bino mulimu: Okubeera n’endwadde z’ekikaba ezitajjanjabiddwa bulungi naddala kabootongo, enziku n’endala.

Bw’ofuna endwadde z’ekikaba ng’oli lubuto, kiyinza okuvaako okuvaamu olubuto kuba  ebitundu bino biriraanye ne nnabaana ng’obuwuka bwe bumutuukako akosebwa ssaako olubuto lw’awaniridde ekiruggyamu ssinga toyanguyirwa kujjanjabwa. Endwadde zino zicankalanya nnabaana n’atabeera mutebenkevu kulera mwana olubuto ne luvaamu. Ate omwana bw’aba akuze, ayinza okwonooneka n’azaalibwa ng’ebitundu ebimu tabirina.

Mu mbeera eno, olina okutwala obuvunaanyizibwa ne wejjanjabisa obulungi endwadde zino nga weeteekateeka okulufuna.

Ekirala olubuto luyinza okuvaamu ng’omumwa gwa nnabaana munafu nga tegusobola kuwanirira mwana ali munda n’okumukuuma nga mulamu obutafuluma nga tannatuusa.

Oba ssinga omwana owookubiri ayawukana ku bisenge bya nnabaana, olubuto luvaamu. Omwana ono bw’aba atondebwa, omwana owookubiri alina okwekwata ku bisenge bya nnabaana kuba afunako omusaayi n’ebirungo ebirala, byonna ebimuliikiriza biyitira mu mwana owookubiri.

Era omwana owookubiri bwe yeekutula ku bisenge bya nnabaana, omwana afa kubanga abeera takyafuna birungo bimuliikiriza ekireetera olubuto okuvaamu.

Mu mbeera eno, genda ew’omusawo w’abakyala akwekebejje era ojjanjabwe nga tonnadamu kufuna lubuto lulala.

Olumu n’embeera gy’olimu oba enneeyisa yo esobola okuvaako okuvaamu embuto. Ssinga okozesa nnyo ebiragalalagala n’ebitamiiza kisobola okuvaako okuvaamu olubuto.

Fuba okulaba ng’olya bulungi ate ebika by’emmere byonna okusobozesa omubiri gwo okufuna ebirungo n’ebiriisa byonna ebyetaagibwa omwana ali mu lubuto ate n’aawe okukusobozesa okumuwanirira okutuuka ku myezi mwenda.

Ekisinga obukulu, laba omusawo w’abakyala akwekebejje ajja kuzuula ekivaako obuzibu era akuyambe okubuvvuunuka.

Ekibuuzo kiddiddwaamu Dr. Godfrey Ssekabira okuva mu Buyege Health Centre III.