Ensonga 6 ezivaako ab’embuto okuzimba obukongovule

By Olive Lwanga

Okuzimba obukonvule mu bakyala b'embuto kyabulijjo era nga kutera kubaawo ng'omuntu amaze okuzaala, wabula waliwo ebintu ebimu ebiyinza okukolebwa okukikendeezaako oba okukimalawo.

Lub01webuse 350x210

Waliwo obubonero abakyala abali embuto bwe batera okufuna era ng'obumu ku bwo mwe muli n'okuzimba obukokola n'ebigere. Dr. Resty K. Birungi ow’eddwaaliro lya Lubaga agamba nti, omukyala ali olubuto okuzimba obukongovule kiva ku mazzi agabeera gayitiridde mu mubiri.

Ebivaako okuzimba obukokola mu b'embuto

  1. Amazzi amangi mu mubiri
  2. Obuzito omwana bw’ateeka ku misuwa.
  3. Omusaayi  okuba nga tegutambula bulungi kutuuka ku mutima.
  4. Enkyukakyuka mu mpulirizo z'omubiri
  5. Okutuula ennyo naddala abakola mu ofiisi.

By'oyinza okukola.

l. Toyimirira nnyo: Weewale okuyimirira okumala ebbanga eddene. Bw’oba osobola tuula ng'ebigere obiwanise waggulu era bw’oba osobodde ebigere byo byetoolooze ng'obizza ku bukongovvule. Oba weebake ng'ebigere obiwaniseemu katono.

2. Weebakire mu mbiriizi: Bw’oba osobola weebakire ku ludda lwa kkono. Kino kikendeeza ku buzito obubeera ku musuwa omunene ogutambuza omusaayi okuva mu bitundu ebirala okudda ku mutima. Osobola n'okuwanika amagulu go ng'okozesa akatto. 

3. Yambala sitookisi: Omusawo wo ayinza okukulagira okwambala sitookisi mu budde bw'emisana, zisobola okukuyambako.

4. Yambala engatto ezitalina kakondo.

5. Kola ku dduyiro omusaamusaamu buli lunaku.  Tambula tambulamu  buli lunaku, okuwuga oba okuvuga ku kagaali bw’oba okyali mu myezi emimpi.

6.  Yimirira oba tambula mu kidiba:  Okutambulira mu mazzi kiyinza okukuyambako okukkakkanya n'okugolola ebinywa era kiyinza okukuyamba okutereeza oba okukkakkanya okuzimba.

7. Sigala ng'oli muweweevu: Osobola okukozesa amazzi agannyogoga n'oteeka ku bitundu ebizimbye.