Aba lotale badduukiridde eddwaaliro ly'e Masaka n'eddagala

By Musasi wa Bukedde

Oluvannyuma lw'eddwaaliro ly'e Masaka okufuna obuzibu bw'eddagala eritamala balwadde abagendayo olw'obungi bwabwe, Bannalotale babakubye enkata.

Abeddwalirolyemasakangabakwasibwaeddaggalawebusemain 350x210

 

Bya Phiona Nannyomo

Ab’e Masaka bafunye akaseko ku matama bwe bafunye eddagala eribadde ettono mu ddwaaliro ekkulu.

Ebbula ly'eddaggala mu malwaliro ga gavumenti e Masaka kimu ku bizibu ebisinga okweraliikiriza Bannamasaka.

Akulira eddwaaliro ekkulu e Masaka, Dr. Nathan Onyachi ategeezezza nti basanga okusoomoozebwa kw’okuba nti eddaggala eribaweebwa ttono kyokka ate nga eddwaaliro lifuna abantu bangi.

 bimu ku byuma ebyaweereddwa eddwaaliro okuyambako mu kujjanjaba Ebimu ku byuma ebyaweereddwa eddwaaliro okuyambako mu kujjanjaba

 

Dr. Onyachi agamba nti, ebiseera ebisinga bafuna abalwadde kyokka ng’eddaggala eririna okubakolako tebalirinaawo era bakomekkereza abalwadde babalagidde okugenda wabweru w'eddwaaliro okuligula.

Embeera eno yawaliriza abasawo okuva e Buyindi  nga bayita mu kitongole kya lotale okudduukirira eddwaaliro lino n'eddaggala okusobola okuweweeza ku kizibu kino.

Bano bagasseeko n'ebitanda abalwadde kwe banaasobola okwebaka naddala bannakazadde b'eggwanga.

 basawoku kkono nga balaga egimu ku mifaliso egyaweereddwa eddwaaliro Abasawo(ku kkono) nga balaga egimu ku mifaliso egyaweereddwa eddwaaliro

 

Akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Masaka, Dr. Stuart Musisi asabye gavumenti okufaayo ennyo ku malwaliro ng’erya Masaka bulijjo okugawanga ebikozesebwa ebyetaagisa ate mu budde kisobozese abasawo okukakkalabya emirimu gyabwe nga tebalina kye beekwasa.

Pulezidenti wa lotale y'e Masaka, Frank Ssekalega yagambye nti lotale yawaddeyo emifaliso, ebyuma eby'enjawulo ebikozesebwa mu ddwaaliro n'eddagala okuyambako ku bwetaavu bw'eddwaaliro lino erifuna abalwadde abangi ddala.