Liirino eddagala erigenda okuyamba ku balina akawuka ka siriimu

By Ruth Nazziwa

Abalina akawuka ka siriimu kye kiseera okufuna akaseko ku matama olw'ekika ky'eddagala erireeteddwa nga lya ssente ntono ate nga teririna bulabe bwa maanyi ng'eribaddewo.

Drjoshuawebuse 350x210

Gavumenti ereese eddagala eppya eriweweeza ku kawuka ka siriimu

Eddagala lino lya ssente ntono era nga lisuubirwa okuba ku 24,986/- ($6.5) buli muntu okumala omwezi.

Teririna bulabe bwa maanyi bwe lireeta ku bantu abalina akawuka bw’ogeraageranya ku libaddewo.

Eddagala ekika kya ‘dolutegravir’ likozesebwa mu bujjanjabi bw’akawuka ka siriimu ku mutendera gw’obujjanjabi bwa siriimu obusooka eri abantu abali ku ddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu erya ARV.

Dr. Joshua Musinguzi, okuva mu kitongole ekirwanyisa siriimu mu Minisitule y’ebyobulamu agamba nti eddagala lino kikola bulungi, likendeeza mangu amaanyi g’obuwuka mu musaayi era nga kizibu akawuka kano okulijeemera.
Omwezi guno we guggweerako, enteekateeka z’okulibunyisa zijja kuba ziwedde. Era lyakumiribwa wamu n’ebika ebirala ebya ‘Tenofavir ne Lamivudine’.

Kino kigenda kuyambako okukendeeza ku mugugu gw’okumira eddagala eringi eri abantu ababadde ku bujjanjabi buno okumala ebbanga eddene. 
Wabula abakyala abalina akawuka ka siriimu nga baagala okuzaala, n’abali ku nkola za famire ez’ekiseera ekiwanvu, si baakuganyulwa mu nteekateeka eno.