Olususu okufuukuuka kimumazeeko emirembe

By Musasi wa Bukedde

Henry Mwase (20) mu disitulikiti y’e Buyende, ali mu bulumi n’obuyiji oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde ekifuukudde olususu lwe.

Genda 350x210

Mwase, ow’e Wesunire-Idala mu Town council y’e Buyende, takyalina mirembe.

Buli w’atuuka abantu bamwesega nga balowooza nti ajja kubasiiga obulwadde bw’alina. Omubiri gwe gwonna gwajjula ebituluttuttu ebiddugavu.

Bimusiiwa buli kiseera era oluusi asula atunula. Agamba waliwo we butabuka n’akozesa n’ejjinja okwetakula.

Obuzibu ate oluusi afuna ebiwundu. Obulwadde bwe abwogerako bwati; “Embeera eno ngimazeemu emyaka munaana. Ntambudde amalwaliro agawerako okufuna obujjanjabi naye sinnafuna linnyamba. Nnina okutya nti obulwadde buno bwandivaako kookolo w’olususu.

Engeri gye sirina ssente bulungi sisobola kugenda mu malwaliro mannene kunkebera bulungi.

Nandiyagadde okunkebera manye ekituufu osanga naafuna n’obujjanjabi obugwanidde.

Omubiri bwe gunsiiwa guggyako ebigalagamba olususu ne lufaanana olw’ekikere.

Omubiri gwonna guli mu mbeera eno ne mu bitundu by’ekyama, okuggyako mu bibatu by’engalo ne mu bigere wansi.

Obutuluttuttu bbulamu amazzi. Bubeera buzimbye era wagenda okuyita ennaku bbiri nga bwabise, ate obupya ne bumera.

Omubiri gusinga kunsiiwa mu biseera eby’omusana naddala nga ntandise okuwulira ebbugumu. Mpulira ng’ali ku maggwa. Bwatyo Mwese bw’annyonnyodde.

OBUJJANJABI

“Nagendako mu ddwaaliro e Buyende, abasawo ne bansindika mu ly’e Kamuli ekkulu. Eno bankebera ne bansindika mu ddwaaliro ly’Abagenge e Buluuba, mu disitulikiti y’e Mayuge.

Eno gye baakantemera nti obulwadde babuzudde naye okumpa obujjanjabi obusooka, nnina kubaawo ne ssente 450,000/- ze nali sirina mu kiseera ekyo.

Kati nnoonya ssente mu b’emikwano n’abakulembeze okuli n’ababaka ba Palamenti nzireyo e Buluuba nfune obujjanjabi obutuufu.

Wabula nnina okutya nti mukulwa kuno, nnyinza okuddayo okunkebera nga nnina kookolo w’olususu.

ABASAWO BYE BAGAMBA

Dr. Manson Ngobi owa Dr. Manson Ngobi, omukugu w’ensusu era eyakebedde Mwase, yagambye nti obulwadde buno buleetebwa obuwuka obusirikitu obulumba olususu.

Yannyonnyodde nti oluusi butambulira mu musaayi, naddala ssinga mu b’ekika waliwo eyabulina, era busobola okukwata omulala.

Oba okuyita mu kugabana ebikozesebwa nga engoye, ebbaafu n’ebirala.

Dr. Ngobi agamba nti embeera eno bw’esajjuka, kyangu okufuna kookolo. Mwase talina ky’alina, kwe kusaba abazirakisa bamudduukirire.

Asaba abalina obuyambi bakube ku 0759340207 oba ku 0770539221, okumanya ebisingawo.