Okuwummula kuliisa obwongo n’odda ku mulimu nga busaza kimu

By Musasi wa Bukedde

By'olina okukola okukkakkanya obulamu obwongo ne busaza kimu ku mulimu

Falls4webuse 350x210

 

Bya Stella Naigino

Abantu bangi bakola awatali kuwummula kyokka ng’omubiri n’obwongo bukyetaaga era bw’otokikola mwandivaamu okulwala.

Wadde okola, kirungi n’okola ku bintu nga bino okuwummuza obulamu:

Kola dduyiro oba okufuna ku masaagi:

Brian Ssemanda omukugu mu bya dduyiro  agamba nti, abantu abasinga abakolera mu ofiisi bakola batudde era nga kirungi ne bakola dduyiro buli lunaku n’okukola masaagi ebinywa ne bita.

Kino kiyamba omubiri okukkakkana era nga kino kimalako situleesi y’omulimu olwo w’oddiramu okukola obeera owulira bulungi.

 piima agendako ne ku biyiriro okukkakkanya omubiri nobwongo Mpiima agendako ne ku biyiriro okukkakkanya omubiri n'obwongo

 

Okukyalira ebifo eby’enjawulo:

Ben Mpiima, atambulako n’alambula ebifo eby’enjawulo buli lw’abeera mu luwummula ky’agamba nti kimuyamba okulaba ku bintu ebipya ebisanyusa obulamu, akola emikwano emipya nakyo ekikwerabiza obukoowu bwa ofiisi.

Laba ku bintu ebirala ebiri mu nsi:

Buli lw’otambulako omanya ekiri mu nsi yo n’emiriraano era nga kino kyongera ku kumanya kwo nakyo ekisanyusa obulamu.