Ebireetera abaana okugaana okuyonka

By Musasi wa Bukedde

Ebintu 8 by'olina okwegendereza ng'omwana agaanye okuyonka

Omukyalangayonsaomwanawewebuse 350x210

Bya Norah Mutesi

Emirundi egisinga  omwana bwe yeggya ku mabeere, wabaawo ensonga ebeera emuleetedde okugavaako, oluusi buba bulwadde oba nga ggwe nga maama okyusizza mu ndya, noolwekyo omusawo okubirizibwa okudduka n’ogenda ew’omusawo omukugu n’amukebera.

  1. Dr. Sabrina Kitaka, omusawo w’abaana mu ddwaaliro ekkulu e Mulago agamba nti, omwana asobola okugaana okuyonka kubanga abeera abuzaabuzibwa enwyanto.

“Olwaleero omwana bw’omuweera amata ku ccupa, ate enkya n’omuyonsa, asobola okugaana okuyonka kubanga abuuzaabuzibwa. Ekirala eccupa eyiwa amata mangi okusinga enywanto gy’alina okusika ekimukyayisa okuyonka,” Kitaka bw’agamba.

  1. Omwana ayinza okuba ng’alina alaje, nga bw’ayonka amabeere gamulwaza.
  2. Dr. Margaret Nakakeeto, omukugu mu bikwata ku baana ku minisitule y’ebyobulamu agamba nti, omwana okugaana okuyonka oluusi amabeere gabeera gabulamu ekirungo kya ‘lactose’ ng’ono ye sukaali asangibwa mu mabeere.

Ebbeere bwe libulamu ekiwoomereze kya sukaali, omwana oluusi awalirizibwa okugaana okuyonka,” Nakakeeto bw’agamba.

 mwana ngateredde obulungi ku bbeere ngono tasobola kugaana kuyonka Omwana ng'ateredde obulungi ku bbeere ng'ono tasobola kugaana kuyonka

 

  1. Amabeere bwe gakendeera kireetera abaana okugaana okuyonka nga bakikola okulaga obutali bumativu.
  2. Dr. Victoria Nakibuuka, omusawo w’abaana mu ddwaaliro e Nsambya  agamba nti, abaana abazaalibwa ng’emimwa gyabwe giriko obulemu nabo bakyawa okuyonka era omuzadde alina okugenda ew’omusawo omukugu n’amutereeza ng’akyali muto.

“Obuzibu obuliwo buli nti, abazadde ennaku zino tebakyafaayo ku baana baabwe ekibaviirako obutamanya mwana bw’aba yasiibye n’okumanya obuzibu bw’alina ku mubiri gwe,” Nakibuuka bw’agamba.

  1. Obutamanya kuyonsa mwana bulungi nakyo kimuleetera okuva ku mabeere amangu, kuba akaluubirirwa okufunamu ky’ayagala mu mirembe, ekivaamu nga yeekyawa ng’abivaako.
  2. Okuyonsa abaana ne batakkuta nakyo kibaviirako okukyawa okuyonka kubanga buli lw’atafuna ky’ayagala alowooza nti toyagala anywe, noolwekyo asalawo agaane okuyonka otere omuwe ebimukkusa.
  3. Abaana abazaalibwa nga tebatuuse batera okugaana okuyonka. Noolwekyo okubirizibwa okukamula amabeere omwana oyo n’omuweera mu lupiira oluyisibwa mu nnyindo n’asobola okukkuta.