Abalwadde b'emitwe oluusi obuzibu babufuna ku mirimu

By Musasi wa Bukedde

Abakugu bazudde ng'abalwadde b'emitwe abamu obuzibu babufunira ku bakozesa abayitiriza amaanyi ne babanyigiriza

Img3786webuse 350x210

Bya Peace Navvuga

Obulwadde bw’omutwe bumu ku butawaanya abantu bangi naddala abavubuka ennaku zino kubanga bangi beeyunidde okukozesa ebiragalalagala. Wabula wadde obuwufu butunuuliziddwa ebiragalalagala, n’abantu abalala tebubatalizza.

Dr. Hafusa Ssentongo Lukwata, agamba nti abakulembeze bakoze kinene okwongera abantu okulwala emitwe okugeza ku mirimu abakulembeze bangi bakozesa obuyinza bwe balina okunyigiriza be batwala ekikosa abakozi abamu mu ndowooza era bangi bafuna okwennyamira nga wano oluusi we bava okutabuka omutwe.

Okutuuka ku bino babadde mu lukung’aana ku kitebe kya disitulikiti y’e Mpigi nga batema empenda okuyamba abantu abalina akawuka ka siriimu ku bwe bayinza okuziyiza okwennyamira.

Leero nga November 9, Uganda yeegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obulwadde bw’omutwe.