Ebika bisaliddwa obukadde 13 ez’ebibumbe

By Musasi wa Bukedde

BULI kika kisaliddwa obukadde 13 okuzimba ebibumbe ebigenda okuteekebwa ku luguudo Kabakanjagala ng’omu ku kaweefube w’Obwakabaka bwa Buganda okutumbula obulambuzi n’okunyweza ebika.

Mengo1 350x210

BULI kika kisaliddwa obukadde 13 okuzimba ebibumbe ebigenda okuteekebwa ku luguudo Kabakanjagala ng’omu ku kaweefube w’Obwakabaka bwa Buganda okutumbula obulambuzi n’okunyweza ebika.

Ku Lwokutaano Katikkiro Charles Peter Mayiga yatongozza omulimu gw’okunoonya ssente zino nga mu buli kika mwalondeddwaayo omuntu agenda okukulemberamu ensonga eno abaaweereddwa nsalesale wa July 2016 okuba nga bafunye ensimbi zino. Mayiga yagambye nti,

“Oluguudo Kabakanjagala lwa byafaayo mu Buganda wamu n’oluva e Seguku okutuuka e Naggalabi- Omulangira w’ayita ng’agenda okufuuka Kabaka. Ebyafaayo bwe biti biteekwa okukuumibwa era twebaza KCCA okulukola.”

Minisita Omubeezi Ow’ebyobulambuzi e Mmengo yategeezezza nti buli kibumbe kigenda kuteekebwa ku kibanja ky’ekika ekyo kye kirina ku luguudo luno.

Abamu ku bagenda okukulemberamu omulimu mu buli kika kuliko; Maria Nabasirye Kiwanuka - Nvuma, Jennifer Nakku Musisi Ssemakula - Ffumbe, John Kitenda - Mpindi, Kiwalabye Male - Kkobe, Hajji Musa Ssemambo - Njovu, Matia Kanyerezi - Nseenene, Gaster Lule Ntakke - Ngonge, Kasozi Mutebi- Mmamba ne Katikkiro w’Akasimba, Lwanga.