Katikkiro Mayiga asabye Gavt. ku ttemu eryakoleddwa ku Mubugirizi wa Kabaka

By Dickson Kulumba

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti wateekwa okubeerawo okufungiza okulwanyisa ettemu mu ggwanga kubanga liremesa enkulaakulana.

Bayo1 350x210

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti wateekwa okubeerawo okufungiza okulwanyisa ettemu mu ggwanga kubanga liremesa enkulaakulana.

Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka, Henry Ssekabembe Kiberu mu kuziika omugenzi Godfrey Mugerwa Maliba  ‘Hassan’ ku kyalo Lunene mu Muluka gw’e Nkoma e Mpenja- Gomba ku Ssande February 5, 2017.

Mayiga yayogedde ku mugenzi nti “Abadde n’ekiruubirirwa eky’okuzzaawo ekitiibwa kya Pikipiki eziwerekera Kabaka ng’ezaaliwo ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II. Obuwereeza buno abadde abukola awatali kusasulwa.”

Ssekabembe mu bigambo bye yagasse eddoboozi lye ku bakungubazi abalala okusaba Poliisi okwongera amaanyi mu kunoonyereza baani abatta abavuzi ba Bodaboda era n'atendereza Maliba okutandika ekibiina ekiwerekera Kabaka kyokka mu 2015 n'awaayo obuyinza nga kati Musa Lubega ye ssentebe kyokka ng’abadde atambulira bulungi n’obukulembeze obuggya.

Minisita Ssekabembe yagambye nti “ Ffena abantu ba Kabaka tulina okweyongera okubeera obumu kubanga yatugatta.”

Ye Omutaka Ying. Allan Waligo Nakirembeka yasabye Bannakibiina abasigaddewo okugenda mu maaso n’omulimu gw’okukuuma Kabaka era n'akulemberamu abakungubazi ne bayimba Ekitiibwa kya Buganda nti gwe mudaali gwe bamuwadde.

Abaserikale abakuuma Kabaka nga baakulembeddwamu Capt. Stanley Musaazi bassizza ekitiibwa mu mugenzi nga bamukubira saluti ate ye Kaggo Patrick Mugumbule ku lw’Abaami b’amasaza banne yasabye e Mmengo wateekebweyo ejjinja okuwandiikibwa amannya g’abantu abazira abatatiiririra Kabaka waabwe.

Mugwerwa yazaalibwa mu 1985 nga yaleese omwana omu Joseph Lukwago  gwe yazaala mu Peruth Naddibya kyokka ng’ebiseera bino abadde abeera ne Agnes Nakivumbi.