Katikkiro ayagala Gav't efulumye lipooti ku ttemu eryakolebwa ku mubugirizi wa Kabaka

By Dickson Kulumba

MMENGO esabye gavumenti eyongere amaanyi mu kunoonyereza ku bakola ettemu ku bantu ensangi zino ekintu ekikuumidde eggwanga mu kutya era nga kyolekedde okuzingamya enkulakulana.

Lumbemaliba1 350x210

MMENGO esabye gavumenti eyongere amaanyi mu kunoonyereza ku bakola ettemu ku bantu ensangi zino ekintu ekikuumidde eggwanga mu kutya era nga kyolekedde okuzing'amya enkulaakulana.

Bino byabadde mu bubaka Katikkiro Charles Peter  Mayiga bwe yatisse minisita w’ebyamawulire era omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba mu kwabya olumbe lw’omugenzi Godfrey ‘Hassan’ Mugerwa Maliba ku kyalo Lunene mu Muluka gw’e Nkoma e Mpenja- Gomba ku Lwomukaaga February 10, 2018 n'agamba  nti Bannayuganda batambulira mu kutya nga tebamanyi bye bakola.

“Tusaba gavumenti ensonga y’okutta abantu mu ngeri y’ekyeyonoonere ekitwale ng’ekikulu, ekole okunoonyereza okw’ekikugu kituyambe okuzuula abali emabega w’ekittabantu. Okugeza e Lwengo abantu baabalaalikanga misana ttuku ate ne bajja ne mu bitundu ebirala bwe batyo. Kati omwaka guweze bukya munnaffe ono Maliba attibwa naye poliisi tevangayo na kyonna kye yazuula ku kufa kwe era tukyagitunuulidde nkaliriza eveeyo n’ebitutuusa ku ani yamutta,” Kiyimba bwe yatuusizza obubaka bwa Katikkiro.

Mu lumbe luno, Kiyimba mwe yategeerezza abakungubazi nga Kabaka bwe yasiimye okuweerera abaana ba Maliba okuli; Joseph Lukwago (eyamusikidde) ne Sharuwa Namuli okutuusa lwe balifuna ddiguli era abantu ne bakubirizibwa okunyiikira okusomesa abaana nga beeyambisa bbasale Obwakabaka ze bwateekawo.

Maliba eyali omutandisi w’ekibiina ky’abavuzi ba pikipiki eziwerekera Kabaka ekiyitibwa Kabaka Mwenyango yasangibwa ng’attiddwa nga February 4, 2017 ng’omubiri gwe gugudde okuliraana essundiro ly'amafuta erya Kobil ku luguudo lwa Bombo nga tonnatuuka ku bitaala by’e Wandegeya.

Ku lw’ekibiina kya Kabaka Mwenyango, ssentebe omuggya, Ismail Mboggoli yeebazizza Obwakabaka olw’okubakwatizaako mu mbeera ey’okusomoozebwa gye babaddemu n’okubakwatizaako nga bategeka omukolo guno.

Omukolo gwetabiddwaako omwami w’eggombolola y’e Mpenja saako n’omukiise w’e Gomba mu Lukiiko lwa Buganda nga bonna basabye abasigadde nga balabirira abaana okuli Ssenga Sandra Namuddu okubakuliza mu mpisa ennungi.