Kabaka ayise munne owa Ghana ku matikkira g'emyaka 25

By Dickson Kulumba

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ayise Omukulembeze w’Obwakabaka bwa Asante e Ghana nga ye Otumfuo Nana Osei Tutu II okubeerawo ku bikujjuko by’amatikkira ag’emyaka 25 ebigenda okubeera mu Lubiri e Mmengo.

Keejagongule5 350x210

Bino byalangiriddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga olunaku lw’eggulo bweyabadde atikkula amakkampuni n’abantu ssekinoomu abaleese ensimbi ez’okuwagira okutegeka ebijjaguzo by’amatikkira ga Kabaka ng’omukolo gwabadde Bulange- Mmengo.

“ Nnina essanyu okubateegeza nti Ssabasajja Kabaka yayise Kabaka munne Otumfuo Osei Tutu II okuva e Ghana. Jjajja wa Kabaka w’e Ghana ono Asantehene Pompey yasibibwa abazungu ne Ssekabaka Mwanga II mu bizinga by’e Seychelles naye laba abazzukkulu bombi bwebazzeemu okusisinkana,” Mayiga bwe yategeezezza.

Katikkiro Mayiga yayongedde nategeza nti omugenyi ono wakubeera mu Buganda okuva 29,7,2018 okutuuka 2,8-2018 era nga yayitiddwa olw’okuba Obwakabaka bw’e Ghana bukulu nnyo era bwe bumu obusinga okussibwamu Ekitiibwa mu buggwanjuba bwa Afirika.

Enkolagana y’Obwakabaka bwa Buganda n’Obwakabaka bwa Asante e Ghana nga mu 2010 Asantehene (Kabaka wa Asante e Ghana) Tutu II yawereza Kabaka Mutebi II obubaka nga yabutika Omulangira  Oheneba Adusei Pocu.

Mayiga yebazizza Kkampuni ezivuddeyo okuteeka ensimbi mu mikolo gy’okukuza amatikkira ng’ezimu ku zaleese ssente kwekwabadde Uganda Breweries nga bano bebakwatagana n’Obwakabaka okusogola omwenge Ngule nga baleese ensimbi obukadde 50.

Abalala abaleese kuliko Omulangira Joseph Kimera, Samuel Lubega ne Joseph Zirimenya abakolera ku Boost House mu Kikuubo mu Kampala n’ensimbi 1,500,000/-.

Kuno kwegatiddwako abawagizi ba Leediyo y’Obwakabaka n’ensimbi 5,000,000/-

“Mbebaza mwenna olw’okuvaayo okuwagira entegeka y’ebikujjuko bya Jubireewo. Bannaffe aba Ngule mbesimisa nnyo kubanga batutegera era mbebaza olw’ensimbi zino zebawaddeyo. Omukago guno gutuyamba aba Ngule nebafunamu naffe netufunayo era ku mikolo gyonna gwemubeera mukozesa,” Mayiga bweyagambye.

Juliana Kaggwa nga y’akulira okutunda Kkampuni eno yategezezza nti mukusogola Ngule bayambye abalimi abasukka 17000 mu ggwanga olwa mawogo mwebaggyamu ebikozesebwa ate mu 2016 basasula ensimbi obuwumbi 64 eri abalimi.

“ Ensimbi zino zigenda kukozesebwa okutegeka omukolo gw’amatikkira, saako n’okukola ku kijjulo. Nga Kkampuni tuyozayoza Kabaka olw’okutuuka ku matikkira ge era tuli beteefuteefu okwongera okukolagana n’Obwakabaka.

Dr. Twaha Kaawaase nga ye Ssentebe w’enteekateeka z’amatikkira g’Omwaka guno yakubiriza abantu ba Buganda okwongera amaanyi mu kukola Bulungibwansi, ebikujjuko eby’enjawulo ebitegekeddwa mu kiseera saako n’okujja mu bungi mu Lubiri nga July 31,2018 lujjuzibwe.

Omukolo gwetabiddwako Minisita Omubeezi owebyensimbi, Mulema Mukasa, Joseph Kawuki omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu n’Omukungu Ronald Kawaddwa akulira Majestic Brands.