Obwakabaka tebukolagana na nguzi - Katikkiro Mayiga

By Dickson Kulumba

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga mwennyamivu! Agamba buli gy’ozza amaaso mu Uganda olaba abantu abanyakula ebintu ebyandigasizza bannansi awamu bw’atyo nalabula nti singa eggwanga terikwatira wamu okulwanyisa obulabbayi, terijja kusenvula mu nkulaakulana.

Katikkironguzi1 350x210

Bino yabyogeredde mu ofiisi ye ku Lwokuna October 18, 2018 bwe yabadde akyazizza kaliisoliiso wa gavumenti, Omulamuzi Irene Mulyagonja n’agamba nti Obwakabaka bulina enkola y’obwerufu nga buli muweereza alina okugitambulirako.

“Obwerufu y’enkola y’okukolera buli kintu mu musana nga tewali ky’ossa wansi wa mmeeza. Era mu bitongole byonna eby’Obwakabaka tubategeza nti omuntu ekintu ky’akola, bw’oba okulira ekitongole. Akulira ekitongole ekyo alina obuvunaanyizibwa okulaba nga buli ky’akola akikolera mu musana nange nga Katikkiro byenkola nnina kubikolera lwatu. Bwe wabaawo ensimbi nga ziyingidde twagala tutegeere bye zaakoze, bwe wabaawo obuzibu, kuba nabwo bubeerawo, twagala  abakozi be tukola nabo bamanye lwaki waliwo obuzibu obwo,” Mayiga bwe yategeezezza.

Mayiga yayongeddeko nti omulimu gwa kaliisoliiso wa gavumenti mukulu ddala eri eggwanga bw’atyo n’asaba abakulembeze ku mitendera gyonna okukwatira awamu okulwanyisa enguzi.

Mulyagonja yategeezezza nti ekitongole kibeera ne wiiki y’okulwanyisa enguzi nga buli mwaka bwe batyo bagenda bakyalira ebitongole bwe bakolagana mu ddimu lino bw’atyo n’ayongera okusaba abantu beegatire wamu mu kuwa obujulizi obulumika abali b’enguzi kuba kye kimu ku bizibuwaza okubavunaana.

Kabaka gye buvuddeko yavaayo n’asaba abantu be okukwatira awamu okulwanyisa enguzi nga basooka n’okwewala omululu era bayigirize abaana baabwe okuva buto, ensonga zino.