Katikkiro Charles Peter Mayiga alonze olukiiko olunategeka okuziika kwa Kayima

By Lilian Nalubega

Olukiiko oluteesiteesi lw'okuziika kw'omwami w'Essaza lya Mawokota Kayima lwa kukulirwa minisita Joseph Kawuki

Kayimangawerawebuse 350x210

Bya Lilian Nalubega

Katikkiro Charles Peter Mayiga, abikidde Obuganda okufa kw'abadde omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Mawokota David Ssekyeru Kayima eyagudde mu kinaabiro ku Lwokubiri ekyavuddeko okufa kwe.

Katikkiro era ataddewo olukiiko olugenda okukola ku nteekateeka z'okuziika nga luno lugenda kukolaganira n'abenju y'omugenzi okutambuza eby'okuziika.

Mu kiwandiiko ekisomeddwa minisita w'olukiiko n'amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba, Katikkiro yasaasidde abantu ba Mawokota ne Buganda okutwaliza awamu olw'okuviibwako omuntu abadde omukozi ate ng’ayagala Kabaka we.

Kayima Ssekyeru mu ttaayi ey'ebikuubo ng'aliko by'ayogera ne minisita Kawuki ku Bulange gye buvuddeko.

Olukiiko lwakukulemberwamu minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu, Joseph Kawuki, ng’amyukibwa Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo. Ate Hajji Twaha Lwanyaga Kibalizi Katambala nga ye muwandiisi.

Abalala kuliko; omumyuka asooka owa Kayima, Gabriel Kabonge, omumyuka owookubiri owa Kayima, Hajjati Rehema Kasibante, Kaggo Agnes Ssempa, n'abalala.

 Omumyuka asooka owa Kayima, Gabriel Kabonge omu ku bali mu nteekateeka z'okuziika.

Obuweereza bw'omugenzi mu Bwakabaka

1. David Ssekyeru yafuuka Kayima mu 2013 okutuusa w'afiiridde.

2. Abadde mukiise mu Lukiiko lwa Buganda.

3. Yaliko omumyuka wa Mutuba II Kiringente okuva mu 2010 okutuuka mu 2013.

4. Yaliko Ssentebe wa Bulungibwansi mu Buganda mu 2010

5. Abadde ne Diguli mu by'eddiini (Theology)

6. Yafuna dipuloma mu kunoonya obutale.

7. Abadde mulimi ow'emmwaanyi omututumufu era nga mulunzi.

8. Abadde asomesa abantu ku by’obulimi.

9. Abadde musuubuzi wa mmwaanyi n'ebintu ebirala era ng’abadde akamula omubisi gw'amatooke ng’agutunda mu mawanga ga Bulaaya.

10. Y'abadde ajenti w'amazzi g'Obwakabaka aga Olwendo mu Mawokota.

11. Mubuulizi wa njiri.

Abadde mufumbo ne Jesca Ssekyeru nga balina n'abaana.

 inisita Minisita Noah Kiyimba ng'ayanjula enteekateeka z'okuziika ku Bulange -Mmengo

 

Omumyuka wa Kayima ayogedde ku mukamaawe.

Gabriel Kabonge, abadde omumyuka asooka owa Kayima ategeezezza nti, omugenzi abadde amaze ebbanga lya wiiki ssatu nga takyetaba mu nkiiko za Ssaza nga teyeewulira bulungi nga n'omulundi ogwasembyeyo olukiiko yalagidde ne lutuula mu makaage e Katende ng’ayagala abeereko by'ateesa ku kulwanagana okwaliwo wakati w'abazannyi b'Essaza ly’e Mawokota ne Buddu.

"Era twatuula wuwe n'atugabula n'okutugabula. Yatusaba bulijjo okukuumanga empisa bwe tuba twagala obuwanguzi n'okwongera okuba obumu bwe tuba baakutwala essaza lyaffe mu maaso," Kabonge bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, Kayima yabakubirizza okwanguya buli omu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa ku nteekateeka yaabwe okuzimba ekyalo ky'ebyobuwangwa ku Ssaza okwongera okufuula ekifo eky'ebyobulambuzi.

Abadde ayagala Ebika bitandike okukiikanga ku Ssaza buli wiiki okumalako omwaka mu ngeri ey'okutumbula ebyobulambuzi.

 atambala wanyaga ye muwandiisi wolukiiko oluteesiteesi Katambala Lwanyaga ye muwandiisi w'olukiiko oluteesiteesi

 

Ddereeva we naye ayogedde

Abadde ddereeva w'omugenzi, Asadu Ssemwogerere ku ssimu yategeezezza nti ebbanga ddene ly'amaze ng’avuga omugenzi era oluusi abaddenga asalawo ne yeevuga wadde abadde oluusi atawaanyizibwa puleesa.

"Naye abadde antwala nga mwana, ng’ambuulirira naddala ng’ayagala okulaba nga nneezimba. Mpulira nnemereddwa okumwerabiramu wadde eddakiika," Ssemwogerere bwe yagambye.