'Muggye ebyobufuzi mu nsonga za Kabaka'

By Musasi wa Bukedde

OMWAMI w’essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa agugumbudde bannabyabufuzi olw’okukozesa emirimu gy’Obwakabaka nga akadaala okutuukiriza ebigendererwa byabwe ebirala.

20147largeimg227jul2014151509343703422 350x210

Yasoomoozezza bonna abeegwanyiza ebifo by’obukulembeze mu kalulu ka 2021, baweereze Kabaka nga tebeebalirira naye baleme kugatikka buweereza mu Bwakabaka na byabufuzi.

Nakibirige bino yabyogeredde ku mukolo ogwabadde mu ggombolola y’e Ssaabagabo mu muluka gw’e Lufuka ku mukolo gw’okutongoza ekibiina ky’abakyala abakola ebyemikono n’okukola ssabbuuni. Bw’atyo Kaggo Nakibirige bwe yategeezezza.