Tugenda kulwanyisa ebiswaza obuwangwa

By Lilian Nalubega

Abataka balemedde ku ky'okulwanyisa abaswaaza obuwangwa n'ennono bya Buganda naddala ku mikolo gy'okwanjula

Bataka1webuse 350x210

Bya Lilian Nalubega

Abataka abakulu b'obusolya bongedde okuluma n'ogwa waggulu mu kaweefube waabwe okulaba nga baddamu okunnyikiza ennono mu bazzukulu.

Bano bategese omusomo ogw'omulundi ogwokuna ku nnono nga ku luno baakwetooloolera ku mulamwa ogugamba nti, ‘Amaka aganywedde gawa Buganda ekitiibwa’.

Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka, Omutaka Kayiira Gajuule era nga ye mukulu w'ekika ky’Embogo yagambye nti, newankubadde emyaka gigenda giyitawo nga n'emiramwa buli mwaka gikyuka si baakulagajjalira egyo egiba giyise era nga baakulondoola enneeyisa n'empisa z'abazzukulu okulaba nga bituukana n'ennono zaabwe.

 bataka oluvannyuma lwolukiiko lwabwe Abataka oluvannyuma lw'olukiiko lwabwe

 

"Okugeza twalina omulamwa ku kwanjula n'okwanjulwa era twawalirizibwa n'okuleeta abamu ku boogezi ku lukiiko lwaffe olutegeka n'okulondoola okukakasa nga wabaawo ebikyuka. Enkola ey'abako okuzibiza obudde ku buko, okuzinirayo n'abalala nga baali batuuse n'okwenywegererayo tusuubira nti, zigenda zikendeera," Omutaka Kayiira bwe yagambye.

Yakikkaatirizza nti, n'emiramwa emirala ng’okwabya ennyimbe egyayogerwako emabega girondoolwa.

Wassiddwaawo akakiiko akateekateeka omusomo guno nga kakulemberwa omutaka Kayiira Gajuule n’abalala okuli omutaka Kidimbo, Ssaababiito w'e Kibulala, Nankere, Muteesasira, muka Ssekabaka Kintu Sharifah Kirimuttu, Katikkiro wa Kisolo, Kireega, Muteesasira, Ssaalongo Kawuki, Sonko Kavi, Daniel Lutwama n'abalala.

Bano baakubiriziddwa okutegeka omusomo oguli ku mutendera ogwa waggulu era nga kw'olwo baakufulumya n'ekitabo ekigenda okulambika abantu ku nkola ey'okwanjula n'okwanjulwa ng’eno ye yali mu mulamwa ogw'omwaka oguwedde.

Omusomo gwakubeerawo nga October 18, 2019 mu Lubiri e Mmengo.