Katikkiro akubirizza Bannamawokota ku by'enjigiriza

By Dickson Kulumba

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu okwekkiririzaamu wamu n'obuntubulamu olwo eggwanga lwe linaatuuka ku nkulaakulana ey'omuggundu.

Kol0 350x210

Bino abyogeredde Lungala - Mpigi mu ssaza ly'e Mawokota bw'abadde akuliddemu emikolo gy'okujjaguza emyaka 10 egya Pride College School bukya litandikibwawo naagamba nti eby'enjigiriza gwe mubumbulano ogutambuza eggwanga.

Mayiga asinzidde wano nayongera okuwa abantu amagezi bulijjo okubeeranga abamalirivu okutandika ebintu bwatyo naasinzira wano neyebaza bonna abatadde ekiragiro Kabaka kyeyawa emyaka 20 egiyise mu nkola bweyalagira abantu be okutandika okuzimba amasomero okutumbula eby'enjigiriza.

Omukolo guno gwasoose n'okusaba okwakulembeddwamu Rev. Fr. Kizito Ssebunya ng'ono yasabidde n'abayizi abagenda okukola ebigezo ebyamalirizo n'abayizi nti essaala zabawadde nkulu wabula si zakubagada singa tebasoma bitabo.

Francisco Ssemwanga nga ye Dayirekita w'essomero lino yawadde basomesa banne amagezi nti nabo basobola emirimu gy'enkulakulana gyebatandika era naasaba abakozi ku mitwndera gyonna okukola obutawera okutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweereddwa.

Akola nga omwami w'essaza ly'e Mawokota, Kayima Kabonge yategeezezza Katikkiro nti abazadde batandise okutegeera obukulu bw'ebyenjigiriza era n'asaba amasomero okwongera okudduukirira ensawo ya Kabaka ey'ebyenjigiriza nga bagaba bbasale.

Omukolo gwetabiddwaako baminisita okuli; Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Waggwa Nsibirwa, David Kyewalabye Male n'abakungu abenjawulo okuva e Mmengo okuli Ronald Kawaddwa.

alt=''