Omusiguze bamufumise ebiso

By Musasi Wa

Omusajja aludde ng’alabula omusiguze okumuviira ku mukazi, amusooberedde ng’asinda naye omukwano n’amutemaatema ebiso ebyamutuusizza ku mugo gw’entaana.

Bya Rwambuka Mugisha

Omusajja aludde ng’alabula omusiguze okumuviira ku mukazi, amusooberedde ng’asinda naye omukwano n’amutemaatema ebiso ebyamutuusizza ku mugo gw’entaana.

Amon Kariba ye yaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro  lya Universal Health Centre Clinic  gye yatwaliddwa ng’ataawa olw’ebiwundu ebigambibwa nti byamufumitiddwa Nkwatsibwe, nnyini mukazi.

Bombi nga batuuze b’e Kibingo, Ngoma mu Disitulikiti y’e  Ruhaama kigambibwa nti baludde nga bawalaggana oluvannyuma lw’eyafumise okukitegeera nti Kariba asinda omukwano ne mukaziwe  Melidah era n’amulabula kyokka ng’omusiguze yeegaana.

Okubakwata yasoose kulimba mukaziwe nti agenze Kampala nga tamanyi lw’agenda kukomawo, olwo ekiro omukazi n’atemya ku musiguze eyazze mu nju ya Nkwatsibwe ne batandika okunyumiza akaboozi ku muliri bwa nnyinnimu.

Oluvannyuma Nkwatsibwe eyabadde yeekwese mu bitooke by’awaka yavuddeyo n’asamba oluggi n’abasanga mu kikolwa n’afumita muliraanwa ebiso n’amuleka ng’ataawa n’adduka.

Omukazi mu kusoberwa yakubye enduulu ab’omuliraano ne bajja era beebatutte Kariba mu ddwaaliro.

Omu ku baserikale ba poliisi abanoonyereza ku musango guno yategeezezza nti Nkwatsibwe anoonyezebwa era bw’azuulibwa waakuvunaanibwa okutwalira amateeka mu ngalo.

 

Omusiguze bamufumise ebiso